TOP

Kojja Kimbowa Yiga gwe yaguza ebintu ayogedde

Added 28th October 2020

KOJJA Kimbowa yagaanyi okwogera ku nsonga za Yiga wadde nga yakkirizza nti alina ebintu bya Yiga bye yagula.

Kojja Kimbowa (wakati) n’abakungubazi abalala e Kawaala.

Kojja Kimbowa (wakati) n’abakungubazi abalala e Kawaala.

Yagambye nti endagaano ze baakola ziri mu balooya baabwe n'ajuliza okubaako ky'annyonnyola ng'okuziika mukwano gwe kuwedde. Omwaka oguwedde, Yiga puleesa yamulinnya ng'ali South Afrika ne bamubika.

Mu budde obwo olw'okweraliikirira okungi awo we baafulumiza ebifaananyi bye. Nga January 16, 2019 yakwata akatambi ne kasaasaana ng'ayogera eri Bannayuganda ku mbeera y'obulwadde obwali bumuluma ne lwaki yali alabika bubi ng'agamba nti ebyo bibye bya buntu ate buli muntu asobola okulwala.

Yiga yategeeza nti ali bulungi era agaziya bizinensi ze omuli n'okutegeka ttivvi ye endala eya GRC.

Yavumirira n'abaamwogerera olw'okubuulira enjiri e South Afrika mu Lungereza olufu n'agamba nti olaba akozesa n'Abazungu nga William Kelly gwe yayogerako nti y'agenda okuba omu ku bavunaanyizibwa ku ttivvi empya, olwo Bannayuganda bamulanga ki?!

Ku olwo era yagattako nti agenda kugaziya emirimu gye okutuuka ne mu ggwanga lya Botswana.

Nga October 23, 2015 eyali omuyambi we mu kkanisa ya Revival, yamuwawaabira okumuzaalamu omwana n'atamulabirira. Brenda Nalubega yategeeza omulamuzi kkooti enkulu mu Kampala nti Yiga yamusiiga siriimu.

Yiga yategeeza abagoberezi mu kkanisa ye nti eby'endwadde enkambwe tabimanyi kwe kubalaga omubiri n'ababuuza nti, "alina endwadde enkambwe alabika nga nze bwe mundaba?" Nalubega yafa mu September 2016.

KOJJA Kimbowa
yagaanyi okwogera ku
nsonga za Yiga wadde
nga yakkirizza nti alina
ebintu bya Yiga bye
yagula.
Yagambye nti
endagaano ze baakola
ziri mu balooya baabwe
n'ajuliza okubaako
ky'annyonnyola
ng'okuziika mukwano
gwe kuwedde.
Omwaka oguwedde,
Yiga puleesa yamulinnya
ng'ali South Afrika
ne bamubika. Mu budde
obwo olw'okweraliikirira
okungi awo we baafulumiza
ebifaananyi bye.
Nga January 16, 2019
yakwata akatambi ne
kasaasaana ng'ayogera
eri Bannayuganda ku
mbeera y'obulwadde
obwali bumuluma ne
lwaki yali alabika bubi
ng'agamba nti ebyo
bibye bya buntu ate buli
muntu asobola okulwala.
Yiga yategeeza nti
ali bulungi era agaziya
bizinensi ze omuli
n'okutegeka ttivvi ye
endala eya GRC.
Yavumirira
n'abaamwogerera
olw'okubuulira enjiri e
South Afrika mu Lungereza
olufu n'agamba
nti olaba akozesa
n'Abazungu nga William
Kelly gwe yayogerako
nti y'agenda okuba omu
ku bavunaanyizibwa ku
ttivvi empya, olwo Bannayuganda
bamulanga
ki?!
Ku olwo era yagattako
nti agenda kugaziya
emirimu gye okutuuka
ne mu ggwanga lya
Botswana.
Nga October 23, 2015
eyali omuyambi we
mu kkanisa ya Revival,
yamuwawaabira
okumuzaalamu omwana
n'atamulabirira. Brenda
Nalubega yategeeza
omulamuzi kkooti
enkulu mu Kampala nti
Yiga yamusiiga siriimu.
Yiga yategeeza abagoberezi
mu kkanisa
ye nti eby'endwadde
enkambwe tabimanyi
kwe kubalaga omubiri
n'ababuuza nti, "alina
endwadde enkambwe
alabika nga nze bwe
mundaba?" Nalubega
yafa mu September
2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...