TOP

Nabbi omukazi ayogedde ebyama ku Paasita Yiga

Added 28th October 2020

MAGGIE Kayima, amanyiddwa nga ‘Nabbi Omukazi’ akungubagidde eyali bba ate mukama we, Pasita Augustine Yiga Abizzaayo n’ayogera n’ebyama byabwe.

Yiga ne Nabbi Omukazi.

Yiga ne Nabbi Omukazi.

Kayima, eyayimba ennyimba omuli Omusajja ayenze, Emitima gy'abantu, Yantuma lwe yakola ne Jose Chameleone, ye yali akulira bbandi ya Yiga eya Revival omwali ne muganda we Bena Namisinga, Hassan Ndugga, Hajati Madiina Bibuuza, n'abalala.

Kayima eyagenda ewa Yiga nga wa myaka 19, yatandika okubuulira enjiri n'okuyimba kwe yagatta n'okuba mukyala we, yafuuka w'amaanyi okutuuka 2014 lwe baayawukana n'alangira Yiga nga bw'ali Kidende ow'amaalo eyajja e Kampala ng'envunza zimutta.

Olwo Yiga yali atabuse ne Kayima kyokka ng'obuzibu bwasinga kuva ku kumwagala nnyo abantu abamu mu kkanisa eyo n'abayimbi Kayima be yakulemberanga kwe kwegatta okumulwanyisa nga n'abagobwa mu bbandi oba ekkanisa bagamba nti y'abagobya.

Bwe yagenda, Yiga yatandika okukola Kayima ebikuuno omwali n'okumutega abantu abaali bamuwa ssente ne bamukwatira ebifaananyi mu kifo ky'ataasooka kumanya nti lyali ssabo. Waaliwo n'ebifaananyi by'obuseegu ebyatambula nga kigambibwa nti byali bya Kayima ebyali bisaasaanyizibwa Yiga okumwonoona.

Mu February wa 2015, Kayima yafuna akabenje mmotoka mwe yali atambulira bwe yeefuula, Yiga n'agamba nti alimala kumwetondera okutereera. Wabula ne Yiga yakubwa ekimbe mu kkanisa ye n'agwa n'azirika Kayima naye n'amulangira nti akyafuna ebizibu bingi olw'ebyo bye yali azze amuyisaamu.

Mu December wa 2015, Kayima yasinziira mu lukuhhaana lw'abamawulire mu Kampala n'ategeeza nti waliwo abakazi bangi Yiga bazze asobyako nti n'eky'okuyimba Nabbi Omukazi kyali kya bulimba nga baakipanga ne Yiga bakole ssente.

ASAASIDDE FFAMIRE

Kayima eyayogedde ne Bukedde ku ssimu, yasoose kusaasira baffamire okuvibwako omuntu ow'omugaso n'agamba nti naye kennyini (Kayima) Yiga y'omu ku baamutuusa w'ali kati.

Nnalina emyaka 19 n'anneesiga okunkwasa ne bbandi ye eya Revival, n'ampa okubuulira mu kkanisa ye n'ebirala. Yanjagala n'okusinga aba ffamire ye nga buli anjogerako ekibi amugoba ku kkanisa. Yali mukwano gwange eyantegeera ennyo nti ne bwe nayawukana naye n'enfuna omulala, nalaba tantegeera kutuuka Yiga ne mmusaba anneetondere tuddemu tukolagane.

Teyakikola wabula nnamulabye gye buvuddeko nga yeetondera bonna bazze akola ebibi.

lKayima we yagendera ewa Yiga yali ku yunivasite e Makerere n'alokokera mu kkanisa ya Pasita Simeon Kayiwa eya Namirembe Christian Fellowship gye yava okwegatta ku Yiga.

EBIZZE BIREME YIGA

Ku bizze birema Yiga, Kayima yategeezezza nti,

mulimu okuba omwewulize kyokka ng'ekyo kyava ku maanyi ge baalina bombi mu budde we yakoleranga ebya Nabbi Omukazi ng'alagula ebinaabaawo.

Yategezaanga abantu mu budde obwo nti gwali musambwa Yiga gwe yagya mu Nnyanja era ng'afuuka na ddala ebigere olumu ne bibeera eby'embuzi.

Kino Kayima yagaanye okwogera oba kyabanga kituufu oba nedda nti waliwo by'alina okwerekera naye ng'amaanyi baali bagalina era agaabeewazanga.

Agattako nti Yiga yakolanga bingi ebiyinza okunyiza omuntu kyokka nga teyeetonda n'asaba b'alese anyiizizza bamusonyiwe.

SI MUFERE

Ku by'okufera abantu, Kayima agamba nti si bituufu, by'amwogerwangako bamuvuganya mu mirimu gya kkanisa. Agamba nti n'abamu ku bamwogerako ebibi ate be basinga ebikuuno ebinen,e kyokka ng'ekyetaagisa essaawa eno kwe kumusonyiwa ebibi bye yakola abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...