TOP

Temulinda kulwala okugenda mu ddwaaliro

Added 28th October 2020

Abatuuze b’e Nabbingo mu Kyengera Town Council bakubiriziddwa obutalinda kulwala okugenda mu ddwaaliro bajjumbire okwekebeza endwadde n’okukyusa mu nneeyisa yaabwe.

Omusawo ng'akebera omukazi amannyo. Emabega ye Dr. Sseruyange ne Luswata.

Omusawo ng'akebera omukazi amannyo. Emabega ye Dr. Sseruyange ne Luswata.

Abatuuze b'e Nabbingo mu Kyengera Town Council bakubiriziddwa obutalinda kulwala okugenda mu ddwaaliro bajjumbire okwekebeza endwadde n'okukyusa mu nneeyisa yaabwe.

Bino byogeddwa Dr. Grace Stephen Sseruyange omukugu mu by'amannyo bw'abadde asomesa abantu mu lusiisira lw'ebyobulamu olwategekeddwa munnalotale Robert Luswata ku ddwaaliro lya Nabbingo Medical Centre ng'ali wamu n'ettendekero ly'abasawo erya International Paramedical Insitute e Maya.

Dr. Sseruyange ategeezezza nti abantu bangi batawaanyizibwa amannyo olw'obutamanya ndabirira yaago okuli: okusenya wamu n'emmere gye balya ate ne balinda okulwala okugenda mu ddwaaliro gye basaasaanyiza ssente ennyingi.

Yategeezezza nti okujjanjaba amannyo kya bbeeyi nnyo wabula ssinga abantu batwala obudde ne balaba abasawo waakiri omulundi gumu omwaka, kiyamba okukendeeza ku bizibu bino. Robert Luswata omu ku bavuganya ku bwa mmeeya bwa Kyengera Town Council yawomye omutwe mu nteekateeka eno.

 Agamba nti kino akikoze okuddiza ku bantu abali mu bulumi olw'obwavu obungi obukudde ejjembe ng'ate ebyobulamu bya bbeeyi nnyo n'ategeeza nga bwe bagenda okwetoloola emiruka gyonna e 10 egikola Kyengera Town Council. Yategeezezza nti eby'obulamu buli lwe bibeera ebibi n'ennyingiza y'abantu tetera kuba nnungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...