TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okulonda kw'abavubuka e Kayunga kuzzeemu okuyiika

Okulonda kw'abavubuka e Kayunga kuzzeemu okuyiika

Added 28th October 2020

OKULONDA kw’abavubuka e Kayunga kuyiise omulundi ogw’okubiri oluvannyuma lw’enjuyi ezivuganya okulemwa okukkaanya ku biti by’abalonzi abatuufu abateekeddwa okwetaba mu kulonda.

Amagye ne poliisi nga batangira abavubuka okukola effujjo.

Amagye ne poliisi nga batangira abavubuka okukola effujjo.

OKULONDA kw'abavubuka e Kayunga kuyiise omulundi ogw'okubiri oluvannyuma lw'enjuyi ezivuganya okulemwa okukkaanya ku biti by'abalonzi abatuufu abateekeddwa okwetaba mu kulonda.

         Okulonda okwasooka ku lunaku lwa Monday kwayiika abavubuka bwe baagwa mu bubookisi bw'obululu ne babusambasamba awo ab'obuyinza ne basalawo okulonda.          Bwe baabadde bazzeemu omulundi ogwokubiri era okulonda kwalemye nga kati kisigalidde eri ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga omulamuzi Simon Byabakama okusalawo ddi akalulu lwe kanaakubwa.
          Ekifo ekiriko kalumanywera kye kya ssentebe w'abavubuka ng'enjuyi zombi ez'abaagala ekifo kino okuli olwa Kasule Dan owa NRM n'olwa Nickson Ssenkusu zaalemwa okukkaanya ku balonzi abatuufu abateekeddwa okwetaba mu kulonda.

         Aba Kasule baawakanyizza eky'okulondesa abavubuka abayizi ne babagamba nti tebazaalibwa Kayunga sso nga Ssenkusu agamba nti bateekeddwa okulonda kubanga akakiiko k'ebyokulonda kaawandiise ebbaluwa ebawa olukusa okulonda.

          Ab'ebyokwerinda okubadde poliisi n'amaggye baalabye abavubuka ebifuba bitandise okubabuguma, amyuka RDC James Mukose Motondole ne DPC wa Kayunga John Lukooto baatandise okugobawo abavubuka nga bwe babategeeza nti okulonda kusaziddwamu.

         Akulira ebyokulonda e  Kayunga Rashid Musinguzi yagambye nti yawandiise lipoota naagiweereza e Kampala ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda basalewo ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Muwanga Kakooza

Bakungubagidde Kakooza owa ...

MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Daniel Muwanga Kakooza, aziikiddwa e Ssanga mu ggombolola y'e Gombe ku lw'e Semuto. ...

Biden ne Trump

Trump apondoose; amagye gat...

AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump...

Sheikh Muzaata

Embeera ya Muzaata mu ddwaa...

OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa...

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...