TOP

Engeri gy'osobola okukola ssente mu luggya lwo

Added 28th October 2020

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga amaka mangi gatenderezebwa olw’obulungi bw’oluggya.

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga amaka mangi gatenderezebwa olw'obulungi bw'oluggya.

Jamir Ssebalu

Mu kusooka amaka gaabanga n'empya nnene kuba ettaka lyabangawo okukakkasa kino ddayo otunuulire empya zaffe mu byalo. Naye ensangi zino ettaka lyakendedde olw'obungi bw'abantu kuba kati tuli obukade 44 obwabantu. Mu butuufu tubadde tuwunda nnyo empya ne bimuliri nga tulina okusasula abantu abakola omulimu guno.

Olw'enkyukakyuka mu byenfuna oluggya abantu balufudde ekintu ekivaamu ssente era nga mu butuufu kibakoledde. Kino kiggyewo okwekwasa nti nze sirina wenyiza kulimira, banaffe bangi ensangi zino obuntu bwoyinza okulimira mu bifo ebifunda kati babirimira mu lugya.

Kino kibayambye obutasaasaanya ssente ku bintu ng'ennyanya, enva endirwa, obutungulu, obutunda, n'ebirala bingi. Bino birimwa era ne biriibwa awaka ate ebisigalawo ne bitundibwa eri abo ababyetanira okugeza ab'obutale, abafumba emmere, abaamasomero n'ebifo ebirala.

Bannaffe abakoze kino basobodde okukekereza ssente kubanga obuntu buno bw'olaba ng'obutono butwala ssente nyingi. Ye wali otuddeko awo n'ofumintirizamu ssente z'ofulumya mu bibala byo gula awaka oba ebirungo ng'ennyanya oba obutungulu. Abasawo batulagira okulya ebibala naddala mu biseera bya COVID-19.

Bannaffe bangi mu bibuga tubalabye nga bagezaako okusimba ebimera mu mikebe, obuveera, mu bibaawo era ne babituuza ku bifugi by'ennyumba abamu nga balowooza nti bepanka nga beerabidde nti bagezaako okukendeeza ensaasaanya yaabwe. Mu luggyalwo oyinza okufuniramu ddala ssente oba okulufunamu emmere awo munnange n'ogoba enjala awaka ng'okusalawo kuli gy'oli.

Nga onotandika ennima eno sooka otunuulira obugazi bwo luggya lwo nga kw'osinziira okusalawo ky'onaalima naye bino tutera okubirima mu ngeri ye bimuli oluggya lusigale nga lulabika bulungi. Bw'otuuka mu maka agamu mu butuufu oba toyagala na kuvaawo anti ebibala bino birina engeri gye bifaananya oluggya obulungi.

Bw'osimba ebikolo by'ennyanya 58 buli emu n'essaako 35 ojja kufuna 1,740. Singa obadde otunze mu sizone ennungi ennyanya ebbiri (2) zigulidde 500

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.