TOP

Bayize okukola ebitimbibwako engoye ezitundibwa

Added 28th October 2020

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya. Kati akola obugologoosi (dummy) okutimbibwa engoye ezitundibwa mu maduuka.

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky'obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n'abaako ky'ayiiya. Kati akola obugologoosi (dummy) okutimbibwa engoye ezitundibwa mu maduuka.

Muky. Sentamu abeera Maganjo A ng'obugologoosi buno bwe baakazaako erya ddame abukolera mu maka ge. Buno okusinga abasuubuzi babadde babuggya bweru. Agamba nti abukola ne Abdu Karim Yiga nga baakamala emyezi esatu nga babufulumya ne babuguza abasuubuzi mu bitundu eby'enjawulo.

Ddame oba obugologoosi buno akola obw'omuntu omulamba oba ow'ekitundu okusinziira ku musuubuzi ky'ayagala. Muky. Ssentamu agamba nti ezaabwe ze bakola za njawulo nga zibeera zitangaalirira era nga bw'ogisituula tezitowa. Teyingiramu mazzi ate ne bw'ogisiibya mu musana ng'otaddeko engoye tenaanuuka nga eyo ekoleddwa mu pulasitiika.

TEKINOLOGIYA W'OKUKOLA DDAME                                                               Agamba nti Yiga alina mukwano gwe abeera mu Bulaaya akola mu kkolero erikola obugologoosi buno. Yamubuulira engeri gye babukolamu. "Yambuulira by'olina okukozesa okuli ‘fibre glass; ne lozeni kyokka teyammalirayo. Olw'okuba ebiseera bibadde bya bulwadde bwa ssennyiga omukambwe, nga tuyiiya ebintu eby'enjawulo nayongera okunoonyereza nga nkozesa omukutu gwa U -tube.

Yiga agamba nti, "Bye nafuna ku mukutu twagatta obwongo ne Muky. Ssentamu atera okukola ebyemikono nga twatandikirawo okugezesa mu bipapula emirundi egiwerako. Bwe twalaba nga bye tukola bivuddemu bulungi twagula "fibre glass" ne lozeni ne tukola ddame n'evaamu bulungi ddala.

Kino kyatuzzaamu amaanyi agakola endala ne gufuuka omulimu. Bwe twazituusa ku katale ate nga baziyaayaanira. OKUKOLA DDAME Muky. Ssentamu agamba nti "twagulayo ddame ewedde okukola ku 80,000/- nga gye tukozesa okuzimbirako ezaffe nga tuzikola. Dame eno twagisalamu ebitundutundu ebigyawuzaamu bibiri eky'omu maaso ekisigaza amabeere n'ekirala eky'emabega ekiriko akabina.

Bw'aba azimba ekitundu ekiriko amabeere, afuna ddame gy'asazeemu nagigalamiza ku ttundubaali ng'oludda lw'amabeere lutunudde wansi. Ayalirira fayiba ggiraasi mu ddame eno obutalekaamu kituli kyonna. Oluvannyuma akozesa lozeni akola nga enkwaso gw'agenda ng'annyikiza butereevu ku fayiiba giraasi gwe yayaliriddemu okutuusa kyonna nga kibunye.

Ddame gy'amaliriza okuzimbamu fayiba agiteeka mu musana n'ekala. Omusana bwe gubeera omungi ekala mangu. Kino ky'akola ne ku kitundu ekirala eky'akabina. Bw'aba akola ddame ennamba agatta ebitundu byombi by'amalirizza okukola oluvannyuma n'abisiba ng'akozesa lozeni ne bikola ddame ennamba. Oluvannyuma asiigako langi okusinziira ku kasitooma gy'ayagadde. Wabula ezisinga zisiigibwa langi enzirugavu nga ffe wano. Olina okwambala enkampa kubanga fayiba asiiwa ku mubiri oba okufumita bulinga obugimbi bw'ekisaanyi.

AKATALE KA DDAME ZAFFE                                                                                        Yiga y'avunaanyizibwa ku kunoonya akatale nga baziguza abasubuuzi. "Tulina bakasitooma bangi ddala abaziyaayaanira nga n'akatale katusukkako". l Ennamba okutimbibwa engoye z'abakyala ya 80,000/-.

Ey'ekitundu etimbibwako esaati z'abasajja ya 15,000/-. l Ey'ekitundu okutimbibwa engoye z'abakyala ya 7,000/- ate okutimbibwa ez'abaana ya 6,500/- .

EBIKOZESEBWA                                                                                                         ‘Fibre glass' abeera atangalijja nga yeefaananyirizaako akaveera akeeru ne Lozeni abeera wa mazzi nga gwe tweyambisa okugatta awamufayiba ggiraasi n'akwata bulungi. l Ffayiba atundibwa mu kkiro nga ya 25,000/-. Wabula ne lozeni wadde wa mazzi naye atundibwa mu kkiro nga ya 25,000/-. Okukola ddame emu okozesa ekitundu kya kkiro ya ffayiba n'ekitundutundu kimu kyakuna ekya lozeni.

OKUSOOMOOZEBWA Tukozesa mikono gyaffe era tufulumya kitono ddala kyokka abasuubuzi abazaagala bangi ddala. Tubulamu ssente ezituyamba okugula ebikozesebwa mu bungi okukola ddame eziwera.                                   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.