TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikolobero ebizze birondoola ofiisa eyakuba Abataka b'Embogo ttiyaggaasi

Ebikolobero ebizze birondoola ofiisa eyakuba Abataka b'Embogo ttiyaggaasi

Added 28th October 2020

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika ky’Embogo, kumpi buli gy’ava avaayo aleka bamuwanda lulusu!

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

ABADDE aduumira Poliisi y'e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n'abeekika ky'Embogo, kumpi buli gy'ava avaayo aleka bamuwanda lulusu!

Mwine Mukono.

Ebikolobero ebimulondoola we twogerera kati bikyamulese mu bbanga. Yabadde asindikiddwa Hoima nga DPC kyokka ab'e Bunyolo ne bamugaana nga bagamba nti atyoboola ebyobuwangwa, Ekiddiridde be bakama be mu poliisi okumussaako akakiiko okumunoonyerezaako.

Omukwanaganya wa Poliisi ku nsonga z'ebyobufuzi, AIGP Asan Kasingye yategeezezza nti, omuduumizi wa Poliisi Martin Okoth Ochola ataddewo akakiiko kanoonyereze ku bikolwa bya Mwine Mukono ne boofisa abalala abaaduumira okukuba ttiyaggaasi mu bantu mu kusaba okwenjawulo okwategekebwa okwebaza Katonda olw'emyaka omukaaga

Omutaka Gajuule, ow'Ekika ky'Embogo gye yamala ng'akubiriza olukiiko lw'Abataka. Mmisa yali ekulemberwa omusumba eyawummula ow'essaza Masaka, John Baptist Kaggwa.

EBIKOLOBERO EBIMULONDOOLA                                                                                                                                                                               Guno si gwe mulundi ogusoose ng'ateekebwa ku katebe oluvannyuma lw'okwenyigira mu mivuyo.  Mu 2006, bakama be baamukuba akatebe olw'emivuyo egyali e Kasese mu kiseera ky'okunoonya akalulu wakati w'abaali bavuganya ku ky'omubaka omukazi owa disitulikiti okwali Winnie Kiiza (FDC) ne Loice Biira (NRM). 

Waliwo ffayiro y'omusango eyali enoonyerezebwako ku poliisi e Bundibugyo kyokka omusango kkooti n'egugoba. Ekyaddirira ye Mwine okuggyibwa mu ofiisi ne bamunoonyerezaako. 

Kigambibwa nti waliwo abanene mu Poliisi abaamuyimbula era akatebe teyakabugumya n'azzibwa ku mulimu. Eyali OC Station, n'afuulibwa DPC era n'ava ku ddaala lya ASP n'afuulibwa SP. Yasindikibwa mu Busoga mu disitulikiti y'e Luuka, oluvannyuma bamuggyayo okumutwala e Mityana gy'abadde.

Wadde nga baamulumirizza okutyoboola ekitiibwa ky'Ekika ky'Embogo ne bannaddiini, Mwine, olwamuggye e Mityana yabadde agonnomoleddwaako ogufo ogulala e Hoima, abaayo gye baamugobye. Munne gwe baamugobye naye, Bob Kagarura, naye yasindikibwako e Kasese nga omuduumizi wa Poliisi ya Rwenzori East, kyokka naye ebintu ne bimutabukako mu biseera by'obulumbaganyi obwakolebwa ku lubiri lw'Omusinga bwatyo n'akwatibwa ku nkoona.

Omu ku baakolako ne Mwine ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza Bukedde, nti, ebbanga ly'akoze naye abadde musajja mulungi nnyo naye nabo kyabakubye wala bwe baalabye engeri gye yayisizzaamu bannaddiini n'ab'Embogo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.