TOP

Aba NRM mu Kampala beeyulizza mu lukiiko

Added 28th October 2020

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga mu kamyufu kyokka ne batamatira lwaggweeredde mu kweyuza n’okuwaga nti kabattunke mu kalulu ka bonna mu 2021.

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y'ekibiina kya NRM mu Kampala Central n'abo baamegga mu kamyufu kyokka ne batamatira lwaggweeredde mu kweyuza n'okuwaga nti kabattunke mu kalulu ka bonna mu 2021.Mboize

Abakungu okuva ku kitebe kya NRM e Kyaddondo abaakulembeddwa Mike Kennedy Ssebalu baatuuzizza olukiiko ku Hotel Ruch e Nakasero ku Mmande. Omu ku baawangulwa, Max Mboize nga yawangulwa Winnie Madinah Nsegumire ku kifo kya kkansala wa Nakasero III yacwanye nti tasobola kuvaamu ng'alumiriza nti yabbibwa. Yayombye nti eyeeyita omuwanguzi waliwo n'ebifo gy'atasobola kutuuka.

Muky. Nsegumire yafukamidde ne yeetondera Mboize amusonyiwe byonna ebyasoba era asaba amuwagire ku lw'obulungi bw'ekibiina oli n'agaana. Eyali minisita Francis Babu yatabukidde abeeyita aba NRM kyokka ng'omutima gubali ku ludda luvuganya. Yabuuzizza nti, "bw'oba ddala oli wa NRM lwaki yeesimba ku mulala alina kkaadi?"

Yasembye mutabani we Cedric Babu alina kkaadi ya NRM ku ky'omubaka wa Kampala Central ne mukyala we Margeret Zziwa nti buli omu alina eddembe okuvuganya kubanga waliwo ffamire ezizaalibwa nga za bakulembeze. Kyambadde yakkirizza okulekera Babu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.