TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM e Buyende babigaanyi

Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM e Buyende babigaanyi

Added 29th October 2020

Baagambye nti abeeyita abawanguzi baapangisa amagye ne gakuba abantu n’okubamalako emirembe mu Budiope East, kyokka nga bwe baloopera poliisi tefaayo.

Bya Tom Gwebayanga

Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti y'e Buyende bagaanyi eky'okulekera abaabawangula, wakati mu kwekokkola poliisi n'aba LDU okutunula ekyamuli ng'ekibbabululu n'effujjo bigenda mu maaso.

Bagambye nti abeeyita abawanguzi baapangisa amagye ne gakuba abantu n'okubamalako emirembe mu Budiope East, kyokka nga bwe baloopera poliisi tefaayo.

Bino baabyogeredde ku kitebe kya disitulikiti ku Lwokubiri, mu lukiiko Maj. James Kinobe lwe yayise n'asisinkana abaayitamu n'abaawangulwa mu kaweefube w'okuperereza abaawangulwa bave mu lwokaano bawagire abaabawangula.

Poliisi ng'egezaako okutangira Nakato okukuba omubaka Kadogo (mu kyenvu).

 

 "Mu ggombolola y'e Kidera, ba ajenti baffe baagoba bagobe , olwo ebyalo ne byekola ekigenyi okusimba layini emu yokka, wakati mu kuteeka emiwendo gye baagala ku  DR foomu," Omubaka wa  Budiope West, Robert Musoke, bwe yagambye. Mu ngeri eyo, Kyoto yamalirizza afunye obululu 90,000, ate mu Budiope East, Pulezidenti wa FUFA Moses Magogo n'awangula n'obululu 59,00, n'addirirwa Omubaka Dhamuzungu eyafuna 13,500.

Oluliiko olwabadde olw'ebbugumu lwagenze okuggwa ng'abaawangulwa bagaanyi okulekera abaabawangula era ne bateekawo nnakakongo  babaddize ssente ze baasaasaanya.

Ate e Buyende, Annet Mary Nakato, eyawangulwa ku ky'omubaka wa Buyende omukazi, kata bibabugume n'omubaka Veronica Babirye Kadogo ng'amuvunaana okumulemesanga ssupu wa palamenti buli lwe yeesimbawo. Nakato yabadde akuba Maj. Kinone akaama, Kadogo we yatuukidde ne yeekiika mu mboozi, ekyanyiizizza Nakato, okukkakkana ng'awuubye emikono amukube. Nakato yavumiridde RDC, Can. Richard Igwang Odyero, okuleka ab'emmundu ne beefuga ebyalo omuli n'okuwewenyula abantu kibooko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...