TOP

Ebyewuunyisa mu kiraamo kya Yiga

Added 29th October 2020

ENTEEKATEEKA z’okuziika Pasita Augustine Yiga Abizzaayo ziwedde era nga zigenda kugoberera ekiraamo kye yalese. Yiga agenda kuziikibwa ku Ssande ku kkanisa ye okuliraana amalaalo ga nnyina, Elizabeth Kwagala eyafa mu 2018.

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.





Samuel Jengo, mutabani wa Yiga omukulu yakakasizza nti okusinziira ku kiraamo kitaabwe kye yaleka, yalaama aziikibwe oluvannyuma lw'ennaku ttaano ng'amaze okufa.

Olw'okuba nga yafa nga October 26, bwe baabazeemu ng'ennaku ettaano ziggwaako ku Ssande. Richard Kimbowa amanyiddwa nga Kojja Kimbowa abadde mukwano gw'omugenzi yagambye nti omulambo gusuubirwa okuleetebwa ku kkanisa e Kawaala ku Lwokutaano.

Wajja kubaawo okusaba kw'okujjukira emirimu gy'omugenzi n'abantu okumukubako eriiso evvanyuma. Olwo okuziika kujja kubaawo ku Ssande ku kkanisa wennyini okuliraana we baaziika nnyina nga bwe yalaama.

Taata wa Yiga eyali amuzaala omugenzi Yosef Matovu yafa mu 1995 era yaziikibwa Bukomansimbi mu Buddu.


Ebimu ku biri mu kiraamo

  • Munziika oluvannyuma lw'ennaku ttaako
  • Entaana yange mugizimbako ennyumba.
  • Munda mu nnyumba mulina okussaamu ttiivi erina okuba ng'eraga bulungi.
  • Munteeka okumpi ne maama wange.

 

Waliwo abaasooka okuwakanya enteekateeka y'okumuziika ku kkanisa nga baagala aziikibwe Bukomansimbi awali ekiggya kya kitaawe wabula baakizuula nga Yiga yayagala nnyo ekkanisa ye era ng'ekimu ku kyamulaamisa bw'atyo kwe kusigala ng'ali kumpi nayo.

Kino kiyamba bingi omuli abagoberezi be okutuuka amangu we yawummulira n'okukuuma ebintu bye naddala engeri ye gy'abadde akkiriza nti abafutebafa. Eggulo abazimba entaana baatandise okusomba ebikozesebwa mu kuzimba entaana okuli amayinja n'amabulooka ga kajjansi agagenda okweyambisibwa.

EKIRAAMO KYA YIGA

Mu birala ebigambibwa nti Yiga yabiraama mwe muli okuzimba ennyumba entonotono ku ntaana ye ate eteekebwemu ttivvi ennene.

Amalaalo ga nnyina gali mmanju wa kkanisa nga galiko omusaalaba omweru n'amayinja agageetoolodde kyokka si mazimbe ng'amalaalo g'abanene bwe gatera okuba. Ttivvi erina okulaga ebigenda mu maaso ekitegeeza nti entaana ejja kuyingizibwamu amasannyalaze nga bwe kiri ku ntaana ya Canon James Ddungu eyakazibwako erya Kyapambalaasi e Nateete.

Kyapambalaasi yeesimira entaana ku kkanisa ye eya Uganda Martyrs Church e Busega erimu amatiribona okuva ku nnyumba ey'ebbeeyi, amasannyalaze, ebiwandiiko by'ebijjukizo bye n'ebirala.

Ng'oggyeeko ekkanisa, Yiga ekintu ekirala ky'abadde yeenyumirizaamu ye ttivvi ye eya ABS. Ne bwe yali e South Afrika amawulire ne gafuluma nti yali agitunze afune ssente oluvannyuma lw'okuferebwa bwe yabaako ky'annyonnyola nga January 16, 2019 ng'ali mu ggwanga eryo, eyo ttivvi gye yatandikirako n'agamba nti tagitundanga.

Wano aboomunda we basinziira okugamba nti akabonero ka ttivvi ak'okuziikibwa nayo, Yiga ayagala kamubeerere aka ttivvi ey'ekijjukizo kye gye yatandika.

ENTEEKATEEKA z'okuziika
Pasita Augustine Yiga Abizzaayo
ziwedde era nga zigenda kugoberera
ekiraamo kye yalese.
Yiga agenda kuziikibwa ku
Ssande ku kkanisa ye okuliraana
amalaalo ga nnyina, Elizabeth
Kwagala eyafa mu 2018.
Samuel Jengo, mutabani wa Yiga
omukulu yakakasizza nti okusinziira
ku kiraamo kitaabwe kye
yaleka, yalaama aziikibwe oluvannyuma
lw'ennaku ttaano ng'amaze
okufa.
Olw'okuba nga yafa nga
October 26, bwe baabazeemu
ng'ennaku ettaano ziggwaako ku
Ssande.
Richard Kimbowa amanyiddwa
nga Kojja Kimbowa abadde
mukwano gw'omugenzi yagambye
nti omulambo gusuubirwa okuleetebwa
ku kkanisa e Kawaala ku
Lwokutaano.
Wajja kubaawo okusaba
kw'okujjukira emirimu
gy'omugenzi n'abantu okumukubako
eriiso evvanyuma.
Olwo okuziika kujja kubaawo
ku Ssande ku kkanisa wennyini
okuliraana we baaziika nnyina nga
bwe yalaama.
Taata wa Yiga eyali amuzaala
omugenzi Yosef Matovu yafa mu
1995 era yaziikibwa Bukomansimbi
mu Buddu.
Waliwo abaasooka okuwakanya
enteekateeka y'okumuziika ku
kkanisa nga baagala aziikibwe
Bukomansimbi awali ekiggya kya
kitaawe wabula baakizuula nga
Yiga yayagala nnyo ekkanisa ye
era ng'ekimu ku kyamulaamisa
bw'atyo kwe kusigala ng'ali kumpi
nayo.
Kino kiyamba bingi omuli abagoberezi
be okutuuka amangu we
yawummulira n'okukuuma ebintu
bye naddala engeri ye gy'abadde
akkiriza nti abafutebafa.
Eggulo abazimba entaana
baatandise okusomba ebikozesebwa
mu kuzimba entaana okuli
amayinja n'amabulooka ga kajjansi
agagenda okweyambisibwa.
EKIRAAMO KYA YIGA
Mu birala ebigambibwa nti Yiga
yabiraama mwe muli okuzimba
ennyumba entonotono ku ntaana
ye ate eteekebwemu ttivvi ennene.
Amalaalo ga nnyina gali
mmanju wa kkanisa nga galiko
omusaalaba omweru n'amayinja
agageetoolodde kyokka si mazimbe
ng'amalaalo g'abanene bwe
gatera okuba.
Ttivvi erina okulaga ebigenda
mu maaso ekitegeeza nti entaana
ejja kuyingizibwamu amasannyalaze
nga bwe kiri ku ntaana ya
Canon James Ddungu eyakazibwako
erya Kyapambalaasi e Nateete.
Kyapambalaasi yeesimira entaana
ku kkanisa ye eya Uganda
Martyrs Church e Busega erimu
amatiribona okuva ku nnyumba
ey'ebbeeyi, amasannyalaze,
ebiwandiiko by'ebijjukizo bye
n'ebirala.
Ng'oggyeeko ekkanisa,
Yiga ekintu ekirala ky'abadde
yeenyumirizaamu ye ttivvi ye
eya ABS.
Ne bwe yali e South Afrika
amawulire ne gafuluma nti yali
agitunze afune ssente oluvannyuma
lw'okuferebwa bwe
yabaako ky'annyonnyola nga
January 16, 2019 ng'ali mu
ggwanga eryo, eyo ttivvi gye
yatandikirako n'agamba nti
tagitundanga.
Wano aboomunda we basinziira
okugamba nti akabonero ka
ttivvi ak'okuziikibwa nayo, Yiga
ayagala kamubeerere aka ttivvi
ey'ekijjukizo kye gye yatandika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...