TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku kwesiiga enziro

Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku kwesiiga enziro

Added 29th October 2020

'Mbakubiriza okuzannya eby’obufuzi eby’ekintu kiramu nga temusiiga bannammwe nziro wabula okutegeeza abantu enteekateeka ze mulina ez’okukulaakulanya abantu n’ebitundu gye mwagala okukulembera. Obuganda buli wamu n’abo abatambulira ku nsonga z’Obwakabaka.'

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi obutakozesa kiseera kino kusiiga bannaabwe nziro wabula bategeeze abantu baabwe enteekateeka z'okutumbula n'okukulaakulanya ebitundu bye bagenda okukulembera.

Obubaka buno bwatuusiddwa Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita wa gavumenti ez'ebitundu, Christopher Bwanika bwe yabadde e Bulange - Mmengo ku Lwokubiri nga October 27, ku mukolo abantu okuva mu magombolola ag'enjawulo kwe baaleetedde oluwalo .

"Mbakubiriza okuzannya eby'obufuzi eby'ekintu kiramu nga temusiiga bannammwe nziro wabula okutegeeza abantu enteekateeka ze mulina ez'okukulaakulanya abantu n'ebitundu gye mwagala okukulembera. Obuganda buli wamu n'abo abatambulira ku nsonga z'Obwakabaka," Bwanika bwe yatuusizza obubaka.

Mu bannabyabufuzi abeetabye ku mukolo guno kwabaddeko Resty Nanteza Nakapaccu avuganya ku kifo ky'Omubaka omukazi ow'e Buikwe, Esther Nakawooya eyeesimbyewo ku kifo ky'Omubaka omukazi e Nakaseke n'abalala era basabiddwa okukola ebyo ebigasa abantu baabwe.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu,entambula za Kabaka n'abantu ba Buganda ababeera ebweru, Joseph Kawuki yasabye abazadde okukuza abaana baabwe nga babateekateeka okukozesa emikisa egiri wano mu Uganda okusinga okugenda ebweru gye batulugunyizibwa abamu ne bateekebwa ne mu buddu.

Margaret Mutyaba nga ye mumyuka asooka owa Kkangaawo, omwami atwala essaza ly'e Bulemeezi yeebazizza abaawaddeyo ensimbi okutumbula emirimu gy'Obwakabaka era n'asaba batuuse obubaka obukunga abalala okwenyigira mu kaweefube w'okuzimba Buganda.

NGA BWE BALEESE OLUWALO:

Okuva e Bulemeezi; Mutuba V Wabusaana 1,020,000/-, Ssaabawaali Kalagala ekulemberwa Fr. George Kaleebu 650,000/-. Kyaggwe wavuddeyo Mutuba IV Kawuga 4,780,000/-, Mutuba VII Kawolo 1,630,000/- ne Mutuba V Nyenga 3,210,000/-. Abaami ba Kabaka mu ggombolola ya Ssaabagabo Lufuka - Kyadondo 1,055,000/- ate Mutuba III Namayumba - Busiro 1,470,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.