TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyatutte Paasita Bujjingo ne Tamale Mirundi ewa Yiga

Ekyatutte Paasita Bujjingo ne Tamale Mirundi ewa Yiga

Added 29th October 2020

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo ne boogera amafuukuule ku musumba Augastine Yiga.






NGA ekkumi bwe litakyawa omu, abantu ab'enjawulo okuli ne bapasita baagenze mu bungi e Kawaala ku kkanisa ya Revival Christian Centre mu kusaba kw'okujjukira emirimu gya Augustine Yiga Abizzaayo.

Bugingo eggulo yakedde ku kkaninsa ya Yiga eya Revival Christian Church e Kawaala n'agamba nti mu Buganda omuntu tayogera bikikinike ku mulambo okuggyako ng'olina akakwate ku kyamusse. Yagambye nti tewali muntu ateekeddwa kusalira munne musango kuba obutuukirivu bw'omuntu Katonda y'abulaba.

Yatodde amabugo ga bukadde bubiri n'asaba ziyambeko mu nteekateeka z'okuziika era n'asuubiza okuwa amagezi we kinaaba kyetaagisizza mu nzirukanya y'ekkanisa.

Bugingo oluvannyuma yasabidde omusumba Andrew Jengo mutabani wa Yiga omukulu era akulira ekkanisa mu kiseera kino n'asaba Katonda amunywereze mu buweereza bw'ayingiddemu ng'akyali muto.

Tamale Mirundi (ku kkono) ne Kojja Kimbowa.

Jengo yeebazizza Bugingo okubakyalirako n'agamba nti wadde ng'abasumba baawukanya enjigiriza, naye bonna basigala balokole era abatwala bonna ye Katonda ali mu Ggulu.

"Sijja kugaana okujja eri mmwe bakitange okumpabula, nzikiriza Pasita Bugingo ebikolwa byo bya taata era okuva ne leero ogenda kubeera taata gyendi," Jengo bwe yagambye nga tannaba kugenda mu kafubo k'ababiri ye ne Bugingo.

Munnamawulire Tamale Mirundi naye yatuuseeko e Kawaala n'asaasira abakkiriza kyokka ne yennyamira olw'ebigambo ebitali bya buvunaanyizibwa ebyogerwa ku Yiga ayafuuse omulambo.

"Neewuunya omusumba omulamba okuvaayo n'akuba olukuηηaana lwa bannamawulire n'akola pulogulaamu ku mulambo," Mirundi bwe yeewunyizza.

Omusumba w'ekkanisa ya
House of prayer Ministry International,
Aloysius Bugingo
yagugumbudde abantu abaavuddeyo
ne boogera amafuukuule ku
musumba Augastine Yiga.
Bugingo eggulo yakedde
ku kkaninsa ya Yiga eya Revival
Christian Church e Kawaala
n'agamba nti mu Buganda
omuntu tayogera bikikinike ku
mulambo okuggyako ng'olina
akakwate ku kyamusse.
Yagambye nti tewali muntu
ateekeddwa kusalira munne
musango kuba obutuukirivu
bw'omuntu Katonda
y'abulaba.
Yatodde
amabugo ga
bukadde bubiri
n'asaba ziyambeko
mu nteekateeka
z'okuziika
era n'asuubiza
okuwa amagezi
we kinaaba
kyetaagisizza
mu nzirukanya
y'ekkanisa.
Bugingo
oluvannyuma
yasabidde omusumba
Andrew
Jengo mutabani
wa Yiga
omukulu era
akulira ekkanisa
mu kiseera kino
n'asaba Katonda
amunywereze
mu buweereza
bw'ayingiddemu ng'akyali muto.
Jengo yeebazizza Bugingo
okubakyalirako n'agamba nti
wadde ng'abasumba baawukanya
enjigiriza, naye bonna basigala
balokole era abatwala bonna ye
Katonda ali mu Ggulu.
"Sijja kugaana okujja eri mmwe
bakitange okumpabula, nzikiriza
Pasita Bugingo ebikolwa byo bya
taata era okuva ne leero ogenda
kubeera taata gyendi," Jengo bwe
yagambye nga tannaba kugenda
mu kafubo k'ababiri ye ne Bugingo.
Munnamawulire Tamale Mirundi
naye yatuuseeko e Kawaala
n'asaasira abakkiriza kyokka ne
yennyamira olw'ebigambo ebitali
bya buvunaanyizibwa ebyogerwa
ku Yiga ayafuuse omulambo.
"Neewuunya omusumba omulamba
okuvaayo n'akuba olukuη−
ηaana lwa bannamawulire n'akola
pulogulaamu ku mulambo,"
Mirundi bwe yeewunyizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.