TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Yiga gye yeeyubula okuva mu busamize n'akola erinnya mu bulokole

Engeri Yiga gye yeeyubula okuva mu busamize n'akola erinnya mu bulokole

Added 29th October 2020

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka Pasita wa linnya mu ggwanga.

Abazze balaba Yiga by'azze akola ng'okuyimba, okunyakula obusimu, okusawula, okubeera kazannyirizi n'amala n'abuulira enjiri eyawukana ku y'abalala bimufudde wa njawulo.

Oluvannyuma lw'okuva mu ssomero ng'ali mu P4 e Bukomansimbi gye bamuzaala, yasooka kutaayaaya ku kyalo era n'abazadde ne bamuvaako.

Kyokka okujja kw'abayimbi ba Lukwata Guitar Singers abaali bakulemberwa omugenzi Livingstone Kasozi ku kyalo nga bazze okuyimba, gwe mukisa gwe yakozesa okwesogga ekibuga.

Olw'okuba yali muto mu myaka okusinga yabayambanga kubooleza n'okufumba emmere. Kyokka mu biseera by'eddembe baamuyigirizanga okusuna endongo era afudde agimanyi.

Mu 1997 nga Kasozi agudde ku ndiri, Yiga yeesanga ng'ebyokuyimba babiyimirizza kuba ekibiina kyali kitambulira ku mukama waabwe eyali takyasobola kuyimba.

Kigambibwa nti mu kiseera kino, Yiga we yasalirawo okuyiga obusamize era nga yabukolera emyaka ebiri ng'ali mu muzigo gwe e Kawaala.

Mikwano gya Yiga gye yabuuliramu ng'agenda okwesogga obusamize yabagamba nti yali akizudde nga bulimu ssente.

Yagula ekita, obuleku, ebibbo, effumu, emmwaanyi n'embugo n'atandika okusawula. Era buli eyayingiranga mu ssabo ng'akkiriza nti ddala musamize wadde nga yali yeeyiiya.

Yiga lumu yategeeza Bukedde nti wadde ng'ebyobusamize byalimu ssente naye yakizuula nga byali biswaza era ng'abantu bangi bamulaba bubi.

Mukwano gwe omu yamubaliramu ddiiru y'abafere abaatambuzanga akazannyo ka ‘Ani akalengedde' era baamusiba mu makomera agawerako okwali ne mu nkambi y'amagye e Mbuya ne Luzira.

YALI KAFULU MU KUNYAKULA OBUSIMU

Jamil Mukiibi ow'e Bbakuli agamba nti, yasooka okulabagana ne Yiga mu 2006 bwe yali azze okuyiga okukanika essimu we yali akolera ewa Kyakulaga ne Frank Kikomeko e Nakulabye okuliraana Eliote mu 2006.

Wadde nga Yiga baali bamukkiriza okuyiga naye teyabiwa budde kuba yali ayagala nnyo ssente z'amangu ezitamulwisa. Obudde obusinga yabumalanga mu kunyakula busimu era teyabulwanga ssimu z'atunda naddala ekika kya Nokia 3310 ne Erikson.

Kino kyamuviirako okumusibanga olutatadde kuba yakwatibwanga nnyo n'amasimu agabuze.

Yagambye nti Yiga ku ssimu yali tasaaga era ne we baakanikiranga ng'abalabiriza waakiri n'abulawo n'eryanda.

Olunaku olumu yali yaakayimbulwa mu kkomera n'ajja n'abagamba nti; "bannange nkooye eby'okunzibiikiriza buli kaseera era nsazeewo ng'enda kulokoka".

Mukiibi yagambye nti, yasooka kugenda wa Pasita Samuel Kakande n'asabirayo okumala akaseera ate gye yava okugenda e Malawi gye yamala emyezi omukaaga.

Bwe yakomawo yategeeza nti yali mulokole awedde emirimu. Yatandika ekkanisa y'ebiwempe mu Kiwuunya e Makerere n'atandika okubuulira enjiri. Kyokka era yali wanjawulo ku bapasita abalala kuba yaleetanga abayimbi nga Ziza Bafana ne bayimbira mu kkanisa.

"Bwe twasisinkananga nga bw'aba ansiibula ang'amba nti ng'enze mu ssabo kusawula. Yabanga ategeeza kkanisa era ng'alaga nti takyalimu ngalo".

Waliwo abavubuka be baabeeranga nabo e Nakulabye be yakozesanga okuwa obujulizi obw'ekifere ng'amanyi okubasiiga enva z'ebinyeebwa ku mubiri ne baba ng'abaalwala olususu.

Bano yabasabiranga era enkeera bwe baakomangawo nga bamaze okunaaba nga bawa obujulizi ku maanyi g'omusumba. Kyokka bangi baamukaabanga olw'obutabasasulanga bulungi ate nga ekkanisa yali efunye abagoberezi.

Bwe yalaba nga tebikyatambula bulungi mu Kiwuunya, yasengukira e Kawaala ng'afunye n'ettaka eddeneko era baagenda okuwulira nga yeeyongera ttuttumu buli olukya. Bwatyo Yiga eyazaalibwa mu famire enkatulikiti, yafuukira ddala era okutuuka okufa nga bangi bamunyenyeza mutwe.

Kubanga yatuuka okubuulira enjiri ezzaayo eddogo mu kifo ky'okusonyiwa, okupangisa abawa obujulizi ate n'agaana okubasasula ne bamutwala ku poliisi, okuleeta abayimbi b'ennyimba z'omukwano mu kkanisa n'okuleeta bassenga ne bakojja okuyigiriza ku nsonga z'omu kisenge mu kkanisa ekubyeko ng'agamba nti byonna bitambulira wamu.

KIKI KYOLIFA TEWEERABIDDE?

Yiga bwe yatandika ttivvi yaleeta pulogulaamu ezaayogeza abantu ebikankana nga ‘Kalondoozi' ne ‘Kyolifa Teweerabidde'.

Kalondoozi yakolanga ebintu ebyali tebikkirizika era nga birabika ng'ebipangirire ekyawaliriza ekitongole kya UCC ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo okugiwera.

Kuno kwe yagatta akanyomero ka ‘Kyo- lifa Teweerabidde' mw'akyaliza abantu ab'enjawulo n'ababuuza ebibuuzo ebituukira ddala ne mu kisenge.

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo',
yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba
embaawo nnya zokka, tebyamulobera
kwetetenkanya kufuuka
Pasita wa linnya mu ggwanga.
Abazze balaba Yiga by'azze akola
ng'okuyimba, okunyakula obusimu,
okusawula, okubeera kazannyirizi
n'amala n'abuulira enjiri eyawukana
ku y'abalala bimufudde wa njawulo.
Oluvannyuma lw'okuva mu
ssomero ng'ali mu P4 e Bukomansimbi
gye bamuzaala, yasooka
kutaayaaya ku kyalo era n'abazadde
ne bamuvaako.
Kyokka okujja kw'abayimbi ba
Lukwata Guitar Singers abaali bakulemberwa
omugenzi Livingstone
Kasozi ku kyalo nga bazze okuyimba,
gwe mukisa gwe yakozesa
okwesogga ekibuga.
Olw'okuba yali muto mu myaka
okusinga yabayambanga kubooleza
n'okufumba emmere. Kyokka mu
biseera by'eddembe baamuyigirizanga
okusuna endongo era afudde
agimanyi.
Mu 1997 nga Kasozi agudde
ku ndiri, Yiga yeesanga
ng'ebyokuyimba babiyimirizza
kuba ekibiina kyali kitambulira ku
mukama waabwe eyali takyasobola
kuyimba.
Kigambibwa nti mu kiseera
kino, Yiga we yasalirawo okuyiga
obusamize era nga yabukolera
emyaka ebiri ng'ali mu muzigo gwe
e Kawaala.
Mikwano gya Yiga gye yabuuliramu
ng'agenda okwesogga
obusamize yabagamba nti yali
akizudde nga bulimu ssente. Yagula
ekita, obuleku, ebibbo, effumu,
emmwaanyi n'embugo n'atandika
okusawula. Era buli eyayingiranga
mu ssabo ng'akkiriza nti ddala
musamize wadde nga yali yeeyiiya.
Yiga lumu yategeeza Bukedde nti
wadde ng'ebyobusamize byalimu
ssente naye yakizuula nga byali
biswaza era ng'abantu bangi bamulaba
bubi.
Mukwano gwe omu yamubaliramu
ddiiru y'abafere abaatambuzanga
akazannyo ka ‘Ani
akalengedde' era baamusiba mu
makomera agawerako okwali ne
mu nkambi y'amagye e Mbuya ne
Luzira.
YALI KAFULU MU KUNYAKULA OBUSIMU
Jamil Mukiibi ow'e Bbakuli
agamba nti, yasooka okulabagana
ne Yiga mu 2006 bwe yali azze
okuyiga okukanika essimu we yali
akolera ewa Kyakulaga ne Frank
Kikomeko e Nakulabye okuliraana
Eliote mu 2006.
Wadde nga Yiga baali bamukkiriza
okuyiga naye teyabiwa
budde kuba yali ayagala nnyo
ssente z'amangu ezitamulwisa.
Obudde obusinga yabumalanga
mu kunyakula busimu
era teyabulwanga ssimu
z'atunda naddala ekika kya
Nokia 3310 ne Erikson.
Kino kyamuviirako okumusibanga
olutatadde kuba yakwatibwanga
nnyo n'amasimu agabuze.
Yagambye nti Yiga ku ssimu yali
tasaaga era ne we baakanikiranga
ng'abalabiriza waakiri n'abulawo
n'eryanda.
Olunaku olumu yali yaakayimbulwa
mu kkomera n'ajja
n'abagamba nti; "bannange nkooye
eby'okunzibiikiriza buli kaseera era
nsazeewo ng'enda kulokoka".
Mukiibi yagambye nti, yasooka
kugenda wa Pasita Samuel Kakande
n'asabirayo okumala akaseera ate
gye yava okugenda e Malawi gye
yamala emyezi omukaaga. Bwe yakomawo
yategeeza nti yali mulokole
awedde emirimu.
Yatandika ekkanisa y'ebiwempe
mu Kiwuunya e Makerere
n'atandika okubuulira enjiri. Kyokka
era yali wanjawulo ku bapasita
abalala kuba yaleetanga abayimbi
nga Ziza Bafana ne bayimbira mu
kkanisa.
"Bwe twasisinkananga nga
bw'aba ansiibula ang'amba nti
ng'enze mu ssabo kusawula. Yabanga
ategeeza kkanisa era ng'alaga nti
takyalimu ngalo".
Waliwo abavubuka be baabeeranga
nabo e Nakulabye be
yakozesanga okuwa obujulizi
obw'ekifere ng'amanyi okubasiiga
enva z'ebinyeebwa ku mubiri ne
baba ng'abaalwala olususu. Bano
yabasabiranga era enkeera bwe
baakomangawo nga bamaze
okunaaba nga bawa obujulizi ku
maanyi g'omusumba.
Kyokka bangi baamukaabanga
olw'obutabasasulanga bulungi
ate nga ekkanisa yali efunye
abagoberezi. Bwe yalaba nga
tebikyatambula bulungi mu
Kiwuunya, yasengukira
e Kawaala ng'afunye
n'ettaka eddeneko
era baagenda
okuwulira nga
yeeyongera
ttuttumu buli
olukya.
Bwatyo
Yiga eyazaalibwa
mu
famire
enkatulikiti,
yafuukira ddala
era okutuuka okufa
nga bangi bamunyenyeza
mutwe. Kubanga
yatuuka okubuulira
enjiri ezzaayo eddogo
mu kifo ky'okusonyiwa,
okupangisa abawa
obujulizi ate n'agaana
okubasasula ne bamutwala
ku poliisi, okuleeta
abayimbi b'ennyimba
z'omukwano mu kkanisa
n'okuleeta bassenga ne
bakojja okuyigiriza ku
nsonga z'omu kisenge
mu kkanisa ekubyeko
ng'agamba nti byonna
bitambulira wamu.
KIKI KYOLIFA TEWEERABIDDE?
Yiga bwe yatandika ttivvi
yaleeta pulogulaamu ezaayogeza
abantu ebikankana
nga ‘Kalondoozi' ne ‘Kyolifa
Teweerabidde'.
Kalondoozi yakolanga
ebintu ebyali tebikkirizika
era nga birabika
ng'ebipangirire ekyawaliriza
ekitongole kya UCC
ekivunaanyizibwa ku
biweerezebwa ku
mpewo okugiwera.
Kuno kwe yagatta
akanyomero ka ‘Kyo- lifa
Teweerabidde' mw'akyaliza abantu
ab'enjawulo n'ababuuza ebibuuzo
ebituukira ddala ne mu kisenge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...