TOP

Ebintu by'azze apanga okufuna ssente n'ettutumu

Added 29th October 2020

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba nga tebaalina bayimbi b’amannya basikiriza bantu kujja kulaba.

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Yiga ng'omusajja omutetenkanya yayita abamu ku bakozi ab'oku lusegere n'abagamba nga bw'agenda okufuula Maggie Kayima abeere ‘Nabbi Omukazi' era abeere w'amaanyi mu ggwanga.

Yaluka pulaani n'afuna abayimbi ab'amannya n'abawa ssente ng'ogwabwe gwa kuwa bujulizi nti Kayima (Nabbi omukazi) yali afuuka ebintu eby'enjawulo.

Waliwo eyalumiriza nga bwe baali ne Kayima e Mbale mu kivvulu, kyokka baba bali mu wooteeri ekiro agenda okulaba ng'afuuse kkapa. Omulala yagamba nti lumu yabulako katono okugwa ekigwo bwe yalaba ebigere bya Kayima ng'aggyeemu engatto, nga bifaananira ddala eby'embuzi. Kino kyayongera okutunda bandi era buli gye baagendanga ng'abantu beeyuna okulaba Nabbi Omukazi. Abamu baamusabanga aggyemu engatto balabe ebigere, n'agaana olwo abantu ne bakkiriza nti ddala obugere bwandiba obwembuzi nga bwe byogerwa.

Okumanya nga Yiga yali mukuluppya nnyo waliwo omusajja gwe yapanga okuva e Busujju n'ajja aloopa omusango ku poliisi ya Old Kampala. Ono yalumiriza Kayima nti yamupangisa ayimbe mu kivvulu, kyokka essaawa y'okugenda ku siteegi bwe yatuuka baagenda okulaba ng'abulira mu bbanga.

Yiga okumanya yali taggwaayo mu kaweefube w'okwongera okutunda Nabbi Omukazi, yatuukirira omusamize ow'erinnya mu ggwanga n'amusaba bakole pulaani. Yali ayagala agule emmotoka agikwase omusamize, eyalina okugitonera Nabbi Omukazi.

Akakodyo kaali nti, Yiga yali agenda kuvaayo agaane Kayima okutwala emmotoka, ekintu ekyalina okubatabula nga Kayima agamba nti alina okugitwala. Kyokka obuzibu omusamize yasaba obukadde butaano ate nga Yiga yali amuwa busatu era bwetyo ddiiru n'eyiika.

Bwe yalaba ng'Olungereza lumutawaanya olw'okulaba embaawo entono yeekolamu omulimu n'agenda e South Afrika era agenda okukomawo ng'alwogera wadde nga lwalimu ebitege. Kyokka kino tekyamumalaamu maanyi era w'afiiridde nga yeekozeemu omulimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...