TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sylvia Ntambi owa Equal Opportunities Commission bamuggalidde mu kkomera e Kigo

Sylvia Ntambi owa Equal Opportunities Commission bamuggalidde mu kkomera e Kigo

Added 29th October 2020

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa okukakasa kkooti ku kusaba kwe okwokweyimrirwa kwabadde ataddemu.

Muweebwa avunaaniddwa omusango gw'okwekobaana n'abalala ne babuzaawo ssente  obukadde 35 ezaali ez'okuyamba ku balwadde ba siriimu mu bitundu by'e Karamoja nga baazijja ku gavumenti ya Uganda n'asaba kkooti emukkirize ayimbulwe n'aleeta abamweyimrira kyokka ne balemwa okuwa kkooti ebiwandiiko ebimatiza.

Abazze okumweyimrirwa baategezezza kkooti bakolera mu kakiiko ako kyokka balemeddwa okuleeta ebiwandiiko okubadde kaadi z'omulimu okukakasa nti gyebakolera bwatyo omulamuzi nabategeeza nti baddeyo beetegeke anaddamu okusaba nga November 4, omusango lwegunadda mu kkooti.

 Ono emisango kigamibwa nti yagizza wakati wa January 6, 2019 ne April 2019 ngakolagana nebanne balala nga bonna bakozi mu kakiiko ako kyokka bo bavunaanibwa dda era nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira

Abalala baavunaanibwa kuliko omuwandiisi wekyama Agnes Enid Kamahoro ,  Moses Mugabe , Mujuni Mpitsi  omuwandiisi,  Harriet Byangire akola ku bya ssente,  amyuka akola ku bya ssente mu kakiiko Ronnie Kwesiga,  Evans Jjemba , Manasseh Kwihangana ,  Sarah Nassanga , ne Nicholas Sunday Olwor.

 Bano era baafulumya obukadde 19 nga zakukulakulanya mirimu gyakakiiko mu Bantu abalina akawuka ka sirimu kyokka nga byonna byabulimba era nga bakimanyi bulungi ebikolwa byabwe bijja kufiiriza gavumenti ssente era nga bikontana nebigendererwa bya bakama baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...