TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eremesezza aba famire ya Yiga okusuza omulambo ku kkanisa ennaku 2

Poliisi eremesezza aba famire ya Yiga okusuza omulambo ku kkanisa ennaku 2

Added 30th October 2020

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian Revival Church e Kawaala okumala ennaku bbiri ezisigaddeyo nga tannaziikibwa ku Ssande.

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.





Yiga 43, yafudde mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri nga October 20, 2020 wabula bwe yali tannafa yali yalaama omulambo gwe gusuzibwe ku katuuti okumala ennaku ttaano kyokka kino kyajjululwa olw'embeera ne basooka bakkaanya omulambo gusule mu kkanisa ennaku bbiri okuva olwaleero (ku Lwokutaano) okutuuka ku Ssande lw'agenda okuziikibwa.

Kyokka enteekateeka eno poliisi egirinnyeemu eggere era mu lukiiko olwatuulidwaamu ku Lwokusatu akawungeezi abaffamire, ekkaninsa ne poliisi eyabadde ekulembeddwa RPC wa Kampala North, Peter Nkulega baakisazizzaamu ne bakkaanya omulambo gwa Yiga baguleete enkya ku Lwomukaaga okwewala obuvuyo obuyinza okubaawo ng'abantu abangi bakuhhaanye ekiseera ekiwanvu.

EBYOKWERINDA BINYWEZEDDWA

Obyekwerinda byongedde okunywezebwa ku kkanisa e Kawaala okuviira ddala ku kkubo wateereddwaawo bakanyama nga basooka ku kwaza, okunaaba mu ngalo tteeka era okuva ku kkubo okutuuka ku kkanisa waliwo ebifo ebinaabirwamu engalo bya mirundi ebiri.

Okuyingira mu kkanisa munda wagguddwako emiryango ebiri gyokka ogumu guyingiza bantu era wano bakanyama basooka ku kwekebejja ate era bw'oba ofuluma olina kukozesa mulyango mulala nga nawo bakanyama bakwebejja okukakasa nti tolina ky'otutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...