TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Beti Kamya atuusizza obubaka bwa Gav't obukungubagira Yiga

Beti Kamya atuusizza obubaka bwa Gav't obukungubagira Yiga

Added 30th October 2020

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti obw'okukungubaga.

Kamya yategeezezza nti gavumenti ne Uganda efiiriddwa omuntu abadde ow'omugaso mu nkulaakulana y'eggwanga olw'ebyo by'alese akoze ng'okuwa abantu emirimu n'ategeeza nti Yiga agenda kusigala ng'ajjukirwa olw'ebikolwa bye ebirungi eri Bannayuganda.

Yagambye nti ye (minisita) ye yasemba okusisinkana omusumba Yiga ng'ekirwade kya Covid 19 kyakatandika era we yamusangira yaliko abantu baagabudde emmere ku kkaninsa abataalina kyakulya ne yeewuunya omutima gwe omulungi.

Kamya yagambye nti nga ye omuntu Yiga abadde mukwano gwe era abadde yamuwa omukisa nga w'ayagalira okubaako ky'ayogera ku ttivvi ya ABS agende bugenzi.

Kyamya oluvannyuma yeevumbye mu kafubo n'omusumba Jengo nga tekakkiriziddwaamu bannamawulire kyokka ono yamukubirizza okukolagana obulungi ne gavumenti nga kitaawe.

ABATAMIIVU NABO BAAKYEKOZE

Abataviimu bo basazeewo kugumba wabweru wa kkaninsa nga bagamba nti Yiga abadde amanyi buli muntu era baasazeewo kujaguza amagenda ge nga banywa omwenge.

Waliwo n'omutamiivu ayasiwuuse empisa n'aggyako omujjasi leediyo era okukkakkana nga bamuyisizzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...