TOP

Okufa kwa Yiga kusajjudde enkaayana mu basumba

Added 30th October 2020

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera Ssenyonga ebisongovu kyokka abalala nga bamuwagira nti alina okwogera ku basumba banne b’alaba nga balinga abava ku mulamwa.

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Mu katambi ako, Jackson Ssenyonga owa Christian Life Church, takoma ku kulumba Augustine Yiga (Abizzaayo), wabula alumbiramu n'Abasumba abalala b'azze agugulana nabo okuli; Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries, Samuel Kakande owa Synagogue Church of All Nations ne Ronnie Makabai owa ETM.

Akatambi kano kaatandise okusaasaana nga Yiga amaze okufa era ne kongera okutema mu basumba era abamu ne bawagira Ssenyonga ate abalala ne bamulumba nnyo.

Abasumba abaalumbye Ssenyonga nga basinziira mu kukungubagira Yiga e Kawaala baatuuse n'okugamba nti by'alumiriza abalala naye yabirimu bwe yafunira ebizibu ku nnyonyi ng'agenda mu Amerika mu 2008 nga bamulumiriza nti yatigaatiga akawala ak'emyaka 13 nga bali ku nnyonyi, wadde nga bino Ssenyonga yabyegaana.

Mu baalumbye Ssenyonga mwabaddemu Bugingo, Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship ne mukazi we Celia Kayiwa kw'ossa Mondo Mugisha ne Nabbi Mary Keizire.

SSENYONGA AZZIZZA OMULIRO

Pasita Ssenyonga yeerwanyeeko olw'abasumba abaamulumbye olw'okwogerera Yiga ng'amaze okufa n'agamba nti kibeera kikyamu okubikkirira ebikolobero bya Yiga nga bimanyiddwa nti weebiri era nga waliwo n'ababiweera obujulizi.

Yagambye nti abasumba mu kifo ky'okulumba ye, balina kulaba bwe bayamba abantu abaafunira ebizibu ewa Yiga n'abalala abazze bafunira ebizibu mu makanisa ge yayogeddeko ng'agaava ku mulamwa gw'enjiri ne gadda mu kukola ensimbi, okuganza abakazi ab'enjawulo mu kkanisa ate ne batandika okuwetaaweta ebyawandiikibwa mu ngeri ewolereza ebikolobero byabwe.

Yavumiridde Basumba banne ababikkirira amazima ge bamanyidde ddala nti Yiga abadde asussizza ebikolobero, kyokka ne beerimbika mu by'okugamba nti omufu tayogerwako kibi.

Yagambye nti abamu yabeetegerezza ng'ekyabatutte ewa Yiga okumukungubagira kwe kuba ng'emize Yiga gy'abaddemu nabo gye balimu era nga balina okutya nti nabo bwe banaava mu nsi, ebikolobero ebyo bijja kuvaayo era bavumirirwe n'emirambo gyabwe giswale.

Pasita Solomon Male eyayogedde ku Yiga ng'alese emitima gy'abantu egiwerako nga gimenyese ng'agezaako okwegaggawaza n'okwagala abakazi buli abeera amusaze mu maaso n'agamba nti; "kirungi nti afudde era addemu alumye abalala ng'ali mu ntaana."

Kyokka Paasita Wilson Bugembe owa Worship House Church e Nansana nga naye abadde takwatagana na Yiga yagambye nti eky'okuba nga babadde tebakkiriziganya tekimugaana kukubagiza ffamire ya Yiga wamu ne Pasita Andrew Jjengo (mutabani wa Yiga). "Tusobola okuba nga tubadde tetukkiriziganya ku bintu ebimu, kyokka nga simwagaliza kufa.

Kansuubire nti yakozesezza ekiseera ekyasembyeyo okwenenyeza Katonda kuba tewali mutuukirivu ate nga Katonda asonyiwa." Bugembe bwe yategeezezza.

Pasita Michael Kyazze owa Omega Healing Center- e Zzana yagambye nti Yiga abadde muntu atakkiriza kuwabulwa wadde nga bagezezzaako emirundi mingi okumuluhhamya.

Yagambye nti kya nnaku nti yafudde tebannaba kumuzza mu kkubo ttuufu.

Bishop David Kiganda agamba nti ehhombo ya Abizzaayo yaggya abagoberezi bangi ku njigiriza ya Yesu ne batandika okukkiririza mu kwesasuza. Mu kiseera kino nga bamukungubagira ajja kujjukirwa ng'eyabuulira enjiri etagoberera mbuulira ntuufu.

Kyokka Mondo ne Bugingo baayongedde okulumba Ssenyonga gwe baayogeddeko ng'agezaako okwefuula omulongoofu naye nga ku bikolobero kw'atudde nti era yagwa kyokka kati agezaako kukozesa mannya ga basumba balala b'alumba ng'alowooza nti bw'anaakola ekyo kijja kumuzza engulu n'Ekkanisa ye eddemu abantu.

Nabbi Keizire yagambye nti ekiraga nti Ssenyonga yagwa kwe kutandika okulwana n'omulambo

AKATAMBI Pasita Ssenyonga
ke yakutte nga Yiga tannafa
kongedde okusiikuula abasumba
ne beetemamu ng'abamu
boogerera Ssenyonga ebisongovu
kyokka abalala nga
bamuwagira nti alina okwogera
ku basumba banne b'alaba nga
balinga abava ku mulamwa.
Mu katambi ako, Jackson
Ssenyonga owa Christian Life
Church, takoma ku kulumba
Augustine Yiga (Abizzaayo),
wabula alumbiramu
n'Abasumba abalala b'azze
agugulana nabo okuli; Aloysius
Bugingo owa House of Prayer
Ministries, Samuel Kakande owa
Synagogue Church of All Nations
ne Ronnie Makabai owa ETM.
Akatambi kano kaatandise
okusaasaana nga Yiga amaze
okufa era ne kongera okutema mu
basumba era abamu ne bawagira
Ssenyonga ate abalala ne bamulumba
nnyo.
Abasumba abaalumbye Ssenyonga
nga basinziira mu kukungubagira
Yiga e Kawaala baatuuse
n'okugamba nti by'alumiriza abalala
naye yabirimu bwe yafunira
ebizibu ku nnyonyi ng'agenda mu
Amerika mu 2008 nga bamulumiriza
nti yatigaatiga akawala
ak'emyaka 13 nga bali ku nnyonyi,
wadde nga bino Ssenyonga
yabyegaana.
Mu baalumbye Ssenyonga
mwabaddemu Bugingo, Simeon
Kayiwa owa Namirembe Christian
Fellowship ne mukazi we Celia
Kayiwa kw'ossa Mondo Mugisha
ne Nabbi Mary Keizire.
SSENYONGA AZZIZZA OMULIRO
Pasita Ssenyonga yeerwanyeeko
olw'abasumba abaamulumbye
olw'okwogerera Yiga ng'amaze okufa
n'agamba nti kibeera kikyamu
okubikkirira ebikolobero bya Yiga
nga bimanyiddwa nti weebiri era
nga waliwo n'ababiweera obujulizi.
Yagambye nti abasumba mu
kifo ky'okulumba ye, balina kulaba
bwe bayamba abantu abaafunira
ebizibu ewa Yiga n'abalala abazze
bafunira ebizibu mu makanisa
ge yayogeddeko ng'agaava ku
mulamwa gw'enjiri ne gadda mu
kukola ensimbi, okuganza
abakazi ab'enjawulo mu kkanisa
ate ne batandika okuwetaaweta
ebyawandiikibwa mu ngeri
ewolereza ebikolobero byabwe.
Yavumiridde Basumba
banne ababikkirira amazima
ge bamanyidde ddala nti Yiga
abadde asussizza ebikolobero,
kyokka ne beerimbika mu
by'okugamba nti omufu tayogerwako
kibi.
Yagambye nti abamu yabeetegerezza
ng'ekyabatutte
ewa Yiga okumukungubagira
kwe kuba ng'emize Yiga
gy'abaddemu nabo gye balimu
era nga balina okutya nti
nabo bwe banaava mu nsi,
ebikolobero ebyo bijja kuvaayo
era bavumirirwe n'emirambo
gyabwe giswale.
AKATAMBI Pasita Ssenyonga
ke yakutte nga Yiga tannafa
kongedde okusiikuula abasumba
ne beetemamu ng'abamu
boogerera Ssenyonga ebisongovu
kyokka abalala nga
bamuwagira nti alina okwogera
ku basumba banne b'alaba nga
balinga abava ku mulamwa.
Mu katambi ako, Jackson
Ssenyonga owa Christian Life
Church, takoma ku kulumba
Augustine Yiga (Abizzaayo),
wabula alumbiramu
n'Abasumba abalala b'azze
agugulana nabo okuli; Aloysius
Bugingo owa House of Prayer
Ministries, Samuel Kakande owa
Synagogue Church of All Nations
ne Ronnie Makabai owa ETM.
Akatambi kano kaatandise
okusaasaana nga Yiga amaze
okufa era ne kongera okutema mu
basumba era abamu ne bawagira
Ssenyonga ate abalala ne bamulumba
nnyo.
Abasumba abaalumbye Ssenyonga
nga basinziira mu kukungubagira
Yiga e Kawaala baatuuse
n'okugamba nti by'alumiriza abalala
naye yabirimu bwe yafunira
ebizibu ku nnyonyi ng'agenda mu
Amerika mu 2008 nga bamulumiriza
nti yatigaatiga akawala
ak'emyaka 13 nga bali ku nnyonyi,
wadde nga bino Ssenyonga
yabyegaana.
Mu baalumbye Ssenyonga
mwabaddemu Bugingo, Simeon
Kayiwa owa Namirembe Christian
Fellowship ne mukazi we Celia
Kayiwa kw'ossa Mondo Mugisha
ne Nabbi Mary Keizire.
SSENYONGA AZZIZZA OMULIRO
Pasita Ssenyonga yeerwanyeeko
olw'abasumba abaamulumbye
olw'okwogerera Yiga ng'amaze okufa
n'agamba nti kibeera kikyamu
okubikkirira ebikolobero bya Yiga
nga bimanyiddwa nti weebiri era
nga waliwo n'ababiweera obujulizi.
Yagambye nti abasumba mu
kifo ky'okulumba ye, balina kulaba
bwe bayamba abantu abaafunira
ebizibu ewa Yiga n'abalala abazze
bafunira ebizibu mu makanisa
ge yayogeddeko ng'agaava ku
mulamwa gw'enjiri ne gadda mu
kukola ensimbi, okuganza
abakazi ab'enjawulo mu kkanisa
ate ne batandika okuwetaaweta
ebyawandiikibwa mu ngeri
ewolereza ebikolobero byabwe.
Yavumiridde Basumba
banne ababikkirira amazima
ge bamanyidde ddala nti Yiga
abadde asussizza ebikolobero,
kyokka ne beerimbika mu
by'okugamba nti omufu tayogerwako
kibi.
Yagambye nti abamu yabeetegerezza
ng'ekyabatutte
ewa Yiga okumukungubagira
kwe kuba ng'emize Yiga
gy'abaddemu nabo gye balimu
era nga balina okutya nti
nabo bwe banaava mu nsi,
ebikolobero ebyo bijja kuvaayo
era bavumirirwe n'emirambo
gyabwe giswale.
Pasita Solomon
Male eyayogedde ku Yiga
ng'alese emitima gy'abantu
egiwerako nga gimenyese
ng'agezaako okwegaggawaza
n'okwagala abakazi buli abeera
amusaze mu maaso n'agamba
nti; "kirungi nti afudde era addemu
alumye abalala ng'ali mu
ntaana."
Kyokka Paasita Wilson
Bugembe owa Worship
House Church e Nansana nga
naye abadde takwatagana na
Yiga yagambye nti eky'okuba
nga babadde tebakkiriziganya
tekimugaana kukubagiza
ffamire ya Yiga wamu ne Pasita
Andrew Jjengo (mutabani wa
Yiga).
"Tusobola okuba nga
tubadde tetukkiriziganya ku
bintu ebimu, kyokka nga simwagaliza
kufa. Kansuubire nti
yakozesezza ekiseera ekyasembyeyo
okwenenyeza Katonda
kuba tewali mutuukirivu ate nga
Katonda asonyiwa." Bugembe bwe
yategeezezza.
Pasita Michael Kyazze owa
Omega Healing Center- e Zzana
yagambye nti Yiga abadde muntu
atakkiriza kuwabulwa wadde nga
bagezezzaako emirundi mingi
okumuluhhamya. Yagambye nti
kya nnaku nti yafudde tebannaba
kumuzza mu kkubo ttuufu.
Bishop David Kiganda agamba
nti ehhombo ya Abizzaayo yaggya
abagoberezi bangi ku njigiriza ya
Yesu ne batandika okukkiririza mu
kwesasuza. Mu kiseera kino nga
bamukungubagira ajja kujjukirwa
ng'eyabuulira enjiri etagoberera
mbuulira ntuufu.
Kyokka Mondo ne Bugingo
baayongedde okulumba Ssenyonga
gwe baayogeddeko ng'agezaako
okwefuula omulongoofu naye
nga ku bikolobero kw'atudde nti
era yagwa kyokka kati agezaako
kukozesa mannya ga basumba
balala b'alumba ng'alowooza nti
bw'anaakola ekyo kijja kumuzza
engulu n'Ekkanisa ye eddemu
abantu.
Nabbi Keizire yagambye nti
ekiraga nti Ssenyonga yagwa kwe
kutandika okulwana n'omulambo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...