TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebiri mu katambi ka Paasita Ssennyonga ebisaanudde abasumba

Ebiri mu katambi ka Paasita Ssennyonga ebisaanudde abasumba

Added 30th October 2020

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali ne Yiga. Mu kiseera ekyo Yiga yabadde tannafa wabula amawulire agamubika ku mikutu egimu gaabadde gasaasaanye ku Lwokutaano n’Olwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ssenyonga obwedda agamba ababadde mu makanisa g'agamba nti gaava ku mulamwa, bawanike emikono basobole okutandika okuyambibwa okusumululwa. "Waliwo eyali agenzeeko ewa Kakande?

Njagala muwanika emikono. Tugenda kubasabira kibakutukeko. Abaagendako ewa Makabai muwanike emikono….. otyo mbaze musanvu…." Yayongedde okulumba nti: Ate ew'ono ayokya Bayibuli, awakanya obufumbo, ono alina malaaya, ow'e Makerere-Kikoni gwe ng'amba….?

Yagenze mu maaso n'alumba Yiga nti: Kati abaaliko ewa Yiga gwe baabise nti afudde, kale eyeebise kuba amanyi okubikola era tetumanyi bigenda mu maaso…" Kuno Ssenyonga kwe yagasse olukung'aana lwa bannamawulire lwe yategese nga kimaze okukakasibwa nga Yiga afudde n'agamba nti k'asuubire nti omugenzi yafudde alokose.

"Obulamu bwa Yiga bujjudde ebikolobero by'okukwata abakazi ng'abawereba ebirwadde era kye mmanyi nti Mukama ajja kumusasula".

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...