TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abengabi beeyawuddemu ku by'okuziika Yiga ku kkanisa e Kawaala

Abengabi beeyawuddemu ku by'okuziika Yiga ku kkanisa e Kawaala

Added 30th October 2020

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo ng’ab’ekika (Ekyengabi) bawakanya okumuziika ku kkanisa ye.

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA




Obutakkaanya wakati w'ab'ekika kya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo, 43 n'abakulembeze b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise ng'ab'ekika bawakanya okumuziika ku kkanisa ye nga bwe yalaama.

Abeekika baabadde bawakanya okuziika Yiga e Kawaala nga bagamba nti, baludde nga bamusaba alekere awo okubeekutulako nga bwe yakola ng'alokoka n'okukola ekiggya ekikye ku kkanisa n'aziikawo maama we, Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye yekka gw'azaala waliwo n'abalala abaasigala mu Bukatoliki.

Ekiggya abamu ku b'engabi we baagala Yiga aziikibwe

Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala nga kye kyavuddeko olutalo olw'amaanyi n'okusiba ezimu ku nteekateeka z'okumuziika ng'abakulu mu kika kye baagala azzibwe ku butaka.

Yiga yakulira Bukomansimbi mu Buddu awaaziikibwa kitaawe, Yozefu Matovu era baganda be bagamba nti okumuziika e Kawaala abeera abeeyawuliddeko ddala.

Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko olw'amangu lwatuuziddwa ku kkanisa ye okugonjoola ekizibu ekyabadde kiyinza okulemesa ekiraamo kya Yiga omuli n'omulambo gwe okugutwala ku kkanisa ye gumalewo ennaku ttaano nga tannaziikibwa.

Jjajja w'omugenzi Yiga

Okulaama amale ennaku ttaano, yali ayagala kisobozese abagoberezi be abangi mu ggwanga okuva gye bali yonna bamukubeko eriiso evvannyuma wabula omulambo gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze ku by'okuziika olw'enkaayana z'okumuziika.

"Omulambo tusuubira okuguggyayo enkya (leero ku Lwokutaano) oba ku Lwomukaaga kubanga olukiiko luwedde tukkaanyizza aziikibwe nga bwe yalaama wadde nga lubaddemu okusika omuguwa okw'amaanyi." Omu ku baabadde mu lukiiko bwe yategeezezza Bukedde.

Muganda wa Yiga ayitibwa Charles Kayenga Kiribakka eyavudde e Mawogola okujja e Kampala alabe eby'okuziika muto we yategeezezza nti, ‘Yiga yalaama kumuziika ku kkanisa n'atugamba nti yenna alyetantala okumuzza e Buddu talisomoka Lwera.

Ekyalo Mpaama ab'engabi gye baagala Yiga aziikibwe

Yagaana okuzimba ennyumba eyiye ku bubwe ng'agamba nti ekkanisa nnyumba ya Mukama era ye ayagala asulenga mu nnyumba ya Mukama." Ono eyabadde ayambadde ssappule olw'okuba nga Yiga ne baganda be baazaalibwa Bakatoliki.

Kitaabwe Yozefu Matovu yafa mu 1995 ate maama waabwe Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018. Ensonda ku baabadde mu lukiiko zigamba nti, ab'ekika abaabadde bawakanya okumuziika ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya ne Yiga eyalokoka ate nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera obutakwatagana mu bintu bingi olw'endowooza z'eddiini nga ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga abadde tabeerayo ng'agamba nti mulokole.

Omugenzi Paasita Yiga

Mu lukiiko, mwabaddemu abaana ba Yiga abakulu abaakulembeddwa Andrew Jengo, mikwano gye, abakadde b'ekkanisa n'abeekika babiri okuli eyabadde awakanya eky'okumuziika ku kkanisa eyakiikiridde banne ne Kayenga eyabadde awagira ebiri mu kiraamo.

Yiga yafa puleesa, ekibumba, sukaali n'endwadde endala mu ddwaaliro e Nsambya.

Aziikibwa ku Ssande e Kawaala.

ABAKADDE b'ekkanisa ya
Pasita Abizzaayo Yiga eggulo
baatudde mu lukiiko olw'amangu
olw'enkaayana ezaabaluseewo
ng'ab'ekika (Ekyengabi) bawakanya
okumuziika ku kkanisa ye.
Obutakkaanya wakati w'ab'ekika
kya Pasita Augustine Yiga
Abizzaayo, 43 n'abakulembeze
b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise
ng'ab'ekika bawakanya
okumuziika ku kkanisa ye nga bwe
yalaama.
Abeekika baabadde bawakanya
okuziika Yiga e Kawaala
nga bagamba nti, baludde nga
bamusaba alekere awo okubeekutulako
nga bwe yakola ng'alokoka
n'okukola ekiggya ekikye ku
kkanisa n'aziikawo maama we,
Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye
yekka gw'azaala waliwo n'abalala
abaasigala mu Bukatoliki.
Yiga yalaama kumuziika ku
kkanisa ye eya Christian Revival
Church e Kawaala nga kye kyavuddeko
olutalo olw'amaanyi
n'okusiba ezimu ku nteekateeka
z'okumuziika ng'abakulu mu kika
kye baagala azzibwe ku butaka.
Yiga yakulira Bukomansimbi
mu Buddu awaaziikibwa kitaawe,
Yozefu Matovu era baganda
be bagamba nti okumuziika e
Kawaala abeera abeeyawuliddeko
ddala.
Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko
olw'amangu lwatuuziddwa ku
kkanisa ye okugonjoola ekizibu
ekyabadde kiyinza okulemesa
ekiraamo kya Yiga omuli
n'omulambo gwe okugutwala ku
kkanisa ye gumalewo ennaku
ttaano nga tannaziikibwa.
Okulaama amale ennaku ttaano,
yali ayagala kisobozese abagoberezi
be abangi mu ggwanga okuva
gye bali yonna bamukubeko eriiso
evvannyuma wabula omulambo
gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze
ku by'okuziika olw'enkaayana
z'okumuziika.
"Omulambo tusuubira okuguggyayo
enkya (leero ku Lwokutaano)
oba ku Lwomukaaga kubanga
olukiiko luwedde tukkaanyizza
aziikibwe nga bwe yalaama wadde
nga lubaddemu okusika omuguwa
okw'amaanyi." Omu ku baabadde
mu lukiiko bwe yategeezezza
Bukedde.
Muganda wa Yiga ayitibwa
Charles Kayenga Kiribakka eyavudde
e Mawogola okujja e
Kampala alabe eby'okuziika muto
we yategeezezza nti, ‘Yiga yalaama
kumuziika ku kkanisa n'atugamba
nti yenna alyetantala okumuzza e
Buddu talisomoka Lwera. Yagaana
okuzimba ennyumba eyiye ku
bubwe ng'agamba nti ekkanisa
nnyumba ya Mukama era ye
ayagala asulenga mu nnyumba ya
Mukama."
Ono eyabadde ayambadde
ssappule olw'okuba nga Yiga ne
baganda be baazaalibwa Bakatoliki.
Kitaabwe Yozefu Matovu
yafa mu 1995 ate maama waabwe
Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018.
Ensonda ku baabadde mu
lukiiko zigamba nti, ab'ekika
abaabadde bawakanya okumuziika
ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya
ne Yiga eyalokoka ate
nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera
obutakwatagana mu bintu
bingi olw'endowooza z'eddiini nga
ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga
abadde tabeerayo ng'agamba nti
mulokole.
Mu lukiiko, mwabaddemu
abaana ba Yiga abakulu
abaakulembeddwa Andrew Jengo,
mikwano gye, abakadde b'ekkanisa
n'abeekika babiri okuli eyabadde
awakanya eky'okumuziika ku
kkanisa eyeyakiikiridde banne ne
Kayenga eyabadde awagira ebiri
mu kiraamo. Yiga yafa puleesa,
ekibumba, sukaali n'endwadde
endala mu ddwaaliro e Nsambya.
ABAKADDE b'ekkanisa ya
Pasita Abizzaayo Yiga eggulo
baatudde mu lukiiko olw'amangu
olw'enkaayana ezaabaluseewo
ng'ab'ekika (Ekyengabi) bawakanya
okumuziika ku kkanisa ye.
Obutakkaanya wakati w'ab'ekika
kya Pasita Augustine Yiga
Abizzaayo, 43 n'abakulembeze
b'ekkanisa ye e Kawaala bwatandise
ng'ab'ekika bawakanya
okumuziika ku kkanisa ye nga bwe
yalaama.
Abeekika baabadde bawakanya
okuziika Yiga e Kawaala
nga bagamba nti, baludde nga
bamusaba alekere awo okubeekutulako
nga bwe yakola ng'alokoka
n'okukola ekiggya ekikye ku
kkanisa n'aziikawo maama we,
Elizabeth Kwagala kyokka nga si ye
yekka gw'azaala waliwo n'abalala
abaasigala mu Bukatoliki.
Yiga yalaama kumuziika ku
kkanisa ye eya Christian Revival
Church e Kawaala nga kye kyavuddeko
olutalo olw'amaanyi
n'okusiba ezimu ku nteekateeka
z'okumuziika ng'abakulu mu kika
kye baagala azzibwe ku butaka.
Yiga yakulira Bukomansimbi
mu Buddu awaaziikibwa kitaawe,
Yozefu Matovu era baganda
be bagamba nti okumuziika e
Kawaala abeera abeeyawuliddeko
ddala.
Ku ssaawa 5:00 eggulo, olukiiko
olw'amangu lwatuuziddwa ku
kkanisa ye okugonjoola ekizibu
ekyabadde kiyinza okulemesa
ekiraamo kya Yiga omuli
n'omulambo gwe okugutwala ku
kkanisa ye gumalewo ennaku
ttaano nga tannaziikibwa.
Okulaama amale ennaku ttaano,
yali ayagala kisobozese abagoberezi
be abangi mu ggwanga okuva
gye bali yonna bamukubeko eriiso
evvannyuma wabula omulambo
gukyaterekeddwa kkampuni eyakoze
ku by'okuziika olw'enkaayana
z'okumuziika.
"Omulambo tusuubira okuguggyayo
enkya (leero ku Lwokutaano)
oba ku Lwomukaaga kubanga
olukiiko luwedde tukkaanyizza
aziikibwe nga bwe yalaama wadde
nga lubaddemu okusika omuguwa
okw'amaanyi." Omu ku baabadde
mu lukiiko bwe yategeezezza
Bukedde.
Muganda wa Yiga ayitibwa
Charles Kayenga Kiribakka eyavudde
e Mawogola okujja e
Kampala alabe eby'okuziika muto
we yategeezezza nti, ‘Yiga yalaama
kumuziika ku kkanisa n'atugamba
nti yenna alyetantala okumuzza e
Buddu talisomoka Lwera. Yagaana
okuzimba ennyumba eyiye ku
bubwe ng'agamba nti ekkanisa
nnyumba ya Mukama era ye
ayagala asulenga mu nnyumba ya
Mukama."
Ono eyabadde ayambadde
ssappule olw'okuba nga Yiga ne
baganda be baazaalibwa Bakatoliki.
Kitaabwe Yozefu Matovu
yafa mu 1995 ate maama waabwe
Elizabeth Kwagala n'afa mu 2018.
Ensonda ku baabadde mu
lukiiko zigamba nti, ab'ekika
abaabadde bawakanya okumuziika
ku kkanisa baludde nga balina obutakkaanya
ne Yiga eyalokoka ate
nga bo Bakatoliki ekibadde kibaleetera
obutakwatagana mu bintu
bingi olw'endowooza z'eddiini nga
ne mu nkiiko z'ekika ezimu Yiga
abadde tabeerayo ng'agamba nti
mulokole.
Mu lukiiko, mwabaddemu
abaana ba Yiga abakulu
abaakulembeddwa Andrew Jengo,
mikwano gye, abakadde b'ekkanisa
n'abeekika babiri okuli eyabadde
awakanya eky'okumuziika ku
kkanisa eyeyakiikiridde banne ne
Kayenga eyabadde awagira ebiri
mu kiraamo. Yiga yafa puleesa,
ekibumba, sukaali n'endwadde
endala mu ddwaaliro e Nsambya.
Aziikibwa ku Ssande e Kawaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...