TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wakayima atangaazizza ku mpapula z'obuyigirize n'amannya ge amatuufu

Wakayima atangaazizza ku mpapula z'obuyigirize n'amannya ge amatuufu

Added 30th October 2020

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze balonzi kusalawo," Wakayima bwe yategeezezza.

Namayanja Edith Sylvia

OMU ku bavuganya ku kifo ky'omubaka mu munisipaali y'e Nansana, Hannington Wakayima Musoke Nsereko (NUP) avuddeyo n'ayongera okukkaatiriza ku mpapula z'obuyigirize bwe kw'ossa n'amannya ge amatuufu.

Ono asinzidde mu maka g'e e Nansana mu West 2 B mu lukung'aana lwa bannamawulire ng'asinziira ku kiwandiiko ekyamuweereddwa okuva ku kakiiko k'ebyokulonda nga kalaga nti waliwo abaatutteyo okwemugulunya mu kakiiko kano nga bagamba nti ono yali tasaanidde kusunsulwa kuba ebimwogerako tebikwatagana.

Wakayima ng'alaga ebbaluwa eyavudde mu EC eraga okwemulugunya okwatwaliddwayo.

Wakayima agamba nti abamuvuganya okuli omubaka Robert Kasule Ssebunya ne Enock Musoke baatutte okwemugulunya nti omu eyeeyita Wakayima taliiyo mu bitabo bya NIRA nti ne mu kuwangula akululu akaggwa kaawangulwa omuntu atalina bimwogerako nti Munnayuganda era ono yawandulwa mu palamenti oluvannyuma wabula ono  akabatemye nti amannya yagakyusa mu mateeka era ng'ayita mu NIRA nti gonna gage.

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze balonzi kusalawo," Wakayima bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.