TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssennyonga musajja wa buggya nnyo atalina muntu yenna gw'ayagaliza kalungi konna - Bro Ronnie

Ssennyonga musajja wa buggya nnyo atalina muntu yenna gw'ayagaliza kalungi konna - Bro Ronnie

Added 30th October 2020

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa ETM ku Salaama road ne Holy city ku lw'e Ntebe ng'agenzeeyo okubakubagiza.





Bamukubidde enduulu ey'oluleekereke nga bamwaniriza ku kkanisa yaabwe e Kawaala.

Ye Mutabani wa Yiga Andrew Jengo bwe yabadde ayogera eri endiga za kitaawe, yagambye nti ekkanisa yaabwe efunye amaannyi agenjawulo okuva lwe bakyazizza Bro. Ronnie.

Yagambye nti wadde akaseera ke balimu kaakukungubaga, nti naye okufa kwa kitaawe ate kuleese omukisa gwa musajja wa Katonda gw'aludde nga yeegomba olw'ebyamagero by'aludde ng'awulira nti akolera abantu abenjawulo.

Bwe yabadde ayogera eri abakungubazi, Bro. Ronnie yabakubirizza obutaba na mutima gwa bujja ng'abamu ku basumba b'abalokole.

Makabai yagambye nti kya nnaku nnyo okulaba nga abantu Paasita Ssenyonga batuuka okwefuula abalamuzi ba Katonda ne basalira Yiga omusango.

Yagambye nti obuzibu bwa Ssennyonga musajja wa buggya nnyo atalina muntu yenna gw'ayagaliza kalungi konna.

Yasuubizza okukwatirako Jengo mutabani wa Yiga okulaba ng'ekkanisa egenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.