TOP

Badayirekita ba KCCA babiri balekulidde!

Added 31st October 2020

YINGINIYA Andrew Mubiru Kitaka alekulidde emirimu gy’abadde akola mu kitongole kya KCCA. Ono nga y’abadde avunaanyizibwa ku nguudo yalekulidde n’abadde omumyuka w’akulira obutonde bw’ensi, Dr. Najib Lukooya.

YINGINIYA Andrew Mubiru Kitaka alekulidde emirimu gy'abadde akola mu kitongole kya KCCA. Ono nga y'abadde avunaanyizibwa ku nguudo yalekulidde n'abadde omumyuka w'akulira obutonde bw'ensi, Dr. Najib Lukooya.

Kitaka yakolako ng'akulira ekitongole kya KCCA, Jennifer Musisi Ssemakula bwe yasuulawo omulimu nga December 14, 2018 era ekifo n'akibeeramu okumala emyezi 18. Pulezidenti teyamukakasa mu kifo kino n'alonderamu Dorothy Kisaka.
Ying. Kitaka yayingira KCCA mu 2011 ne Jennifer Musisi. Akoze mu kifo ekyo okumala emyaka mwenda.

Eggulo yategeezezza nti endagaano ye yaweddeko era n'ategeeza nti bagizzizza obuggya emirundi esatu kwe kusalawo nti ky'akoze kimala. "Ekisanja kyange eky'okusatu kiweddeko era nkomye awo. Bingi byensobodde okukola n'ebirala bingi ebigenda okutandika Kampala yeeyongere okukula," bwe yagambye.

Abadde omumyuka we, Justus Akankwasa gw'alese mu ntebe. Ku Lwokuna abakozi mu kitongole ky'enguudo baamukoledde akabaga akamusiibula ku Hotel Africana era emirimu yagikomekkerezza ggulo (Lwakutaano).

BY'AKOZE
Okukyusa enkulungo ennene mu kibuga okuli eya Fair way n'enguudo, amasahhaanzira ne bagateekamu ebitaala ebiyamba ku bulippagano okutandikira e Bwaise ku Mambule Road, Kira Road nga ku poliisi, Bukoto, Nakulabye ne Sir Apollo Kaggwa Road.
Abadde yaakamaliriza okumatiza bbanka ya EADB okuwa KCCA ensimbi obukadde bwa ddoola 269 mu za Uganda obuwumbi obukunukkiriza mu 1000.

Enguudo nnyingi ziriko amataala ga Solar. Mu nteekateeka y'okukyusa Kampala, okukyusa enguudo olwa Namirembe ne Luwum okufuuka ez'abeebigere era abadde atadde enguudo ezisoba mu 30 ku lukalala lw'ezigenda okukolebwa.
Ate Najib Lukooya ye kigambibwa yafunye omulimu omusava okusinga ku gw'abadde akola. Amaze emyaka musanvu mu KCCA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...