TOP

Israel etenderezza Museveni olw'okubatabaganya

Added 31st October 2020

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde nga tebalima kambugu. Obutakkaanya bw’amawanga gombi bwabalukawo nga buva ku nkaayana ku bwannannyini bw’ebitundu bya West Bank n’oluwannanda lw’e Gaza ebikaayanirwa Palastine ne Israel.

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw'okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde nga tebalima kambugu. Obutakkaanya bw'amawanga gombi bwabalukawo nga buva ku nkaayana ku bwannannyini bw'ebitundu bya West Bank n'oluwannanda lw'e Gaza ebikaayanirwa Palastine ne Israel.

Omubaka wa Israel mu Uganda, Joseph Oded yasinzidde ku kkanisa ya Miracle Centre ey'omusumba Robert Kayanja n'agamba nti Museveni yakola kinene mu kutabaganya abakulembeze b'amawanga gombi.

"Ssinga teyali Pulezidenti Museveni eyatuuza Katikkiro Benjamin Netanyahu n'omukulembeze wa Sudan, Gen. Abdel-Fattah Burhan mu February w'omwaka guno tewandibadde kya maanyi kikolebwa" Oded bwe yagambye.

N'agattako nti Museveni bamumanyi ng'omuntu ayagala emirembe, akkiririza mu Bayibuli era mukwano gwa Israel owannamaddala.

Pasita Kayanja yasiimye enkolagana eyatuukiddwaako ne Sudan n'agamba nti bino bye bimu ku by'aludde ng'asabira ensi yonna esobole okubaamu emirembe n'okutabagana.

Obed bwe yabuuziddwa oba nga waliwo entegeka z'okuggulawo ekitebe kya Israel mu Uganda, yagambye nti akyagala nnyo n'okulaba nga ne Uganda eggulawo ekitebe ewaabwe.

Netanyahu bwe yakyala mu Uganda mu February yasaba Museveni aggulewo ekitebe mu Jerusalem ekya Israel ennyonyi zisobole okubuuka obutereevu nga ziva mu Uganda nga zigendayo n'okudda.

Mu kwanukula, Museveni yasuubiza nga bwe bajja okukitunulamu balabe oba ng'ekitebe basobola okukiteeka mu kitundu kya Jerusalem ekitaliiko kukaayanirwa.

Mu kiseera kino Uganda terina kitebe kya Israel. Omubaka waabwe atuula e Kenya y'atwala amawanga g'omuliraano okuli; Uganda, Tanzania, Malawi ne Seychelles.

Israel egamba nti ekibuga kya Jerusalem kyonna be bakivunaanyizibwako, kyokka nga Palastine egamba nti obuvanjuba bw'ekibuga kino bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...