TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazirise nga batuusa omulambo gwa Yiga e Kawaala

Bazirise nga batuusa omulambo gwa Yiga e Kawaala

Added 31st October 2020

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine Yiga Mbizzaayo gutuusibwa. Olugendo olusiibula Pasita Yiga lwatandise ssaawa 1:30 ey’oku makya ku Lwomukaaga. Lwatandikidde Mmengo aba kkampuni ya A –Plus gye baggye omulambo gwe mu luseregende lw’emmotoka okugutuusa ku kkanisa ye e Kawaala.

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

EBIWOOBE n'emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng'omulambo gw'abadde agisumba, Pasita Augustine Yiga Mbizzaayo gutuusibwa. Olugendo olusiibula Pasita Yiga lwatandise ssaawa 1:30 ey'oku makya ku Lwomukaaga. Lwatandikidde Mmengo aba kkampuni ya A -Plus gye baggye omulambo gwe mu luseregende lw'emmotoka okugutuusa ku kkanisa ye e Kawaala.

Abantu nga bayamba omukazi eyazirise.

Gwayingiziddwa mu kkanisa ku ssaawa 2:40 era obwedda abantu bayaayaana waakiri okutuuka ku kkeesi bakwateko ate ng'abalala baagala kulabako okukakasa oba ddala omusumba waabwe y'alimu kyokka bakanyama ba UUBA abaabadde bateekeddwa ebbali n'ebbali w'olukuubo omwayisiddwa omulambo nga babalemesa.

Abakyala be baabadde basinga mu kkanisa nga bakira bakuba emiranga n'okwogerera waggulu nti taata, musumba, kitaffe, taata waffe, kabona, otulekedde ani? Era wakati mu miranga abamu baazirise ne bayolebwayoolebwa n'okuwujjibwa. Omulambo nga bagutuusizza we gwabadde gulina okuteekebwa, bamulekwa ne bannamwandu be baatudde okumpi ne kkeesi erudda n'erudda, wamu n'abooluganda n'abamu ku bakadde b'ekkanisa.

Abakazi nga batema emiranga.

Omuyimbi Hassan Ndugga ye yasoose okuyitibwa n'ayimba oluyimba olusiibula Yiga lwe yamukubidde kyokka luno lwayongedde kusaanuula bakungubazi olwo emiranga egyabadde gisiriikiridde ne giddamu buto era ne Ndugga eyasoose okuba omugumu naye yatulise n'akaaba.

Hassan Ndugga yayimbye amaziga gamuyitamu.

Oluvannyuma waabaddewo okwogera okuva mu basumba ab'enjawulo okwabadde omusumba James Kyakuwaza ng'ono yayogedde ku Yiga ng'abadde omusajja omulwanyi ebbanga ly'amulabidde. Obwedda bino bigenda mu maaso nga buli mwogezi amaliriza okwogera nga kkwaaya ekubawo oluyimba. Yiga aziikiddwa leero e Kawaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...