TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumbye Mayinja okuyingiza Bobi mu luyimba lwa Museveni

Balumbye Mayinja okuyingiza Bobi mu luyimba lwa Museveni

Added 31st October 2020

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye baayise emulengezza bwe yamuyise omudongo.

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng'awaana Museveni kyokka
n'ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye baayise emulengezza bwe yamuyise omudongo.

Mayinja yakubye oluyimba olunoonyeza Museveni akalulu lwe yatuumye ‘Mzee akalulu'. Mu luyimba agamba nti Museveni alwanye entalo z'amagye n'emmundu n'aziwangula ate luno olw'akalulu ka 2021 ng'amuvuganya Mudongo!

Oluyimba lumussa mu kattu kubanga abadde yeeraga ng'omuwagizi wa Bobi Wine
kyokka nga waliwo abamulumiriza nti ali mu nkambi ya Museveni, ku ludda oluvuganya agendayo nga mbega.

Aludde nga bakimuteekako nti yalya ssente za NRM. Kyokka okubiwakanya yagenze ewa Bobi Wine nga August 6, n'asaba ekisonyiwo nti talyanga ku ssente.

Kyokka n'asazaamu okwesimbawo e Gomba ku kkaadi ya NUP. Bobi yamusiibuza ebigambo: "Oba weetonze kirungi naye si ffe tulaba emitima gy'abantu. Tubalabira ku bikolwa byabwe, ffe katukulinde''.

Ssenyonyi Ne Ssegirinya

Kyasooka kutegeezebwa mu 2019 nti Mayinja yaweereddwa akawumbi n'emmotoka awagire NRM alekere Kalule Sengo ekifo kya Gomba East kye yali ayagala okwesimbirako ku kkaadi ya NUP. Wabula Mayinja yabiwakanya nti "bwe mba nnina ke nnali ndidde, obudde buliyogera ekituufu."

Mu luyimba, Mayinja yawaanye ebirungi Museveni by'akoze nga yeetaaga asigalewo mu kulonda kwa 2021 abinyweze ate n'alumba abamwesimbyeko nti tebalina bye
bakoze. "Museveni olaba osobola magye naye bano abadongo," bye bimu ku bigambo ebiri mu luyimba.

Aba NUP bamutabukidde Joel Ssenyonyi omwogezi wa NUP yagambye nti twasalawo
obutawa budde nsonga zitalina makulu. Ne Mayinja tusazeewo tumwesonyiwe, amaanyi tugateeke ku kusiguukulula Museveni mu buyinza.

Muhammad Ssegirinya: Mayinja atukoze bubi nnyo. Nsoose ne mpuliriza oluyimba omulundi ogusoose ne nneebuuza oba ddala eddoboozi lino lya Mayinja oba
lya muntu mulala.

Kansuubire nti oluyimba luno tebaamukase kuluyimba oba yabadde tatamidde kubanga Mayinja eyajja ku NUP ne yeetonda n'asaba ekisonyiwo, yeetaaga kusabira. Kazibwe Kapo eyawerekera Mayinja ng'agenze okwetonda ewa Bobi: Mayinja yankakasa okugenda mu NUP yali akomyewo eka, takyaddamu kwekyusa nange kwe kukkiriza okumuwerekera naye bw'aba nga ddala bwatyo bw'asazeewo nze kansirike naye muganda wange oyo atomedde.

Mayinja yategeezezza Bukedde nti ye muyimbi eyasasuddwa okukuba akalango ka Museveni. Kyokka teyayogedde ssente zaamusasuddwa. N'agamba nti, "oba n'aba NUP oba omuntu yenna ayagala, naye ansasule nja kumukubira akalango."

KUSASIRA AJAGANYA
Catherine Kusasira yagambye nti, "nze nnabagamba nti oyo Mayinja aba NUP abalimba
nga mulowooza nsaaga. Kirungi okusiima aliko by'akuwadde.

Mayinja ky'akoze kwe kusiima muzeeyi. Bangi abalya ne badda mu kwebuzaabuza, abalala tebaagala kuvaayo mu lwatu. Mayinja musanyukiddeko era abalaze nti Museveni y'asinga. Mulinde n'abalala aba NUP bajja."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...