TOP

Mutuulakungo alaze bwe yatendeka Yiga okusawula

Added 31st October 2020

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu okusawula. Era obukodyo bwe yaggya mu ssabo kwe yatetenkanyiza ekkanisa. Kyokka ne Mutuulakungo olumu kyamusukkako, omuyizi (Yiga) bwe yamusinza amagezi.

Olusozi Yiga we yatandikira okusawula.

Yiga yalokoka mu kiseera kye kimu ng'akyali mukongozzi mu ssabo. Abantu be yayambululanga mu kifo ky'okubagamba ng'alaamiriza jjajja Nabuzaana, ate Yiga yabasiibuzanga "mu linnya lya Yesu". Olwo Yiga be yakolangako ne balekeraawo okutendereza Mutuulakungo, wabula ne bawaana "Omusamize asawula mu linnya lya Yesu.

Bukedde yayogedde ne Wasswa Muluulakungo ow'emyaka 54. Okumutuukako kwabadde kusiitaana. Yampadde essimu n'andagirira mmusange e Bweyogerere ku lw'e Jinja. Bwe ntuukawo mmukubire essimu. Kyokka bwe nnatuuse e Bweyogerere, n'antegeeza nga bwe yabadde agenze okukungubagira Yiga ku kkanisa ya Revival Christian Centre e Kawaala.

"Jjangu Kawaala gy'ojja okunsanga", bwe yagambye ku ssimu. Nga ntuuse e Kawaala, nnamukubidde essimu n'agikwata. Mutuulakungo: Ye ggwe owa Bukedde? Ndi wano naye tekijja kuba kyangu kundaba. Ssaagala bantu bangi kutegeera nga we ndi, kubanga ntya Corona. Oyambadde otya? Ye ggwe ali ku ssimu? Nkulabye era nkutegedde.

Mutulakungo.

Tunula waggulu ku mwaliiro gw'okusatu ku kkanisa ojja kundaba. Wano owa Bukedde yatunudde waggulu n'alaba Mutuulakungo ng'ayimiridde ku mwaliiro ogwokusatu ku kizimbe okuli ekkanisa. N'agamba: kati twogerere awo ku ssimu.

ENGERI GYE BAASISINKANA NE YIGA                                                                                                                                                         Mutuulakungo agamba: Nnasooka okulaba Yiga mu myaka gy'e 80, ng'akyali mwana muto mu kyalo e Kigangazzi-Bukomansimbi ffembi gye tuzaalibwa. Wadde nga nze nnali mukulu, naye nga mmanyi Yiga kubanga yali mwana wa jawulo ng'abantu ku kyalo bagamba aliko empewo.

Kino baakiggya ku kuba nti ekintu bwe kyabulanga ku kyalo okugeza olugoye oba embazzi nga babuuza Yiga n'ababuulira gye kiri. Era bw'ataagenda wala mu kusoma (Yiga yakoma mu P4) abeekyalo baakissa ku mpewo nti ze zimugaanyi okusoma. Yiga yava mu kyalo mu 1988 n'ajja mu Kampala n'abayimbi ba Kadongokamu, gye yava n'atandika okusawula.

Pasita Yiga

Mu 1990, Mutuulakungo yava mu Uganda n'agenda e Mwanza mu Tanzania ayongere okubangulwa mu busamize. Nga mmalirizza emisomo mu 1991, nnasanga Yiga nga bamusibidde ku poliisi y'e Mulongo ku nsalo ya Uganda ne Tanzania, bwe yali agezaako okuyingira Tanzania nga talina bimwogerako.

Nneegayirira abaserikale nti Yiga gwe baali bakutte yali muntu wange era ne bakkiriza okumumpa. Okuvaayo twalinnya kabangali ne tutuula emabega okutuuka mu Kampala. Bwe twatuuka mu Kampala, Yiga yakwata gage nange ne nkola byange. Oluvannyuma nnamusanga e Nakivubo okumpi ne ppaaka ya bbaasi za UTC (kati awali Mukwano Arcade) mu maaso ga Owino.

Mu kiseera ekyo nze (Mutuulakungo) nnali ntunda ddagala gganda mu luggya lwa Owino ate nga Yiga azannya zzaala eyakazibwako "ani akalengedde?" Twalabagananga buli lunaku ne tunyumya emboozi okuva mu kyalo okutuuka ku kutetenkanya ekibuga.

YIGA AYINGIRA OBUSAMIZE                                                                                                                                                                                             Mu 1997, Yiga yampitiramu ng'obulamu bukalubye kuba obuzannyo bwe yatambuzanga nga kumpi buli lunaku bumutwaza mu kkomera. Ekyali kiruma ennyo Yiga kwe kuba nga yali muyimbi amanyi n'okusuna endongo kyokka nga talina w'asobola kuyimbira. Nnamugamba ajje tutandike okukola fenna n'akkiriza.

Namutwala ku ssabo lyange e Nakawa okuliraana siteegi y'oku Geeti ne ntandika okumutendeka era yandaga nga muyizi mulungi kubanga yali akwata mangu. Nnamuwa obuvunaanyizibwa okubeera omukongozzi nga y'akuma ebyoto n'okunoga eddagala erimu. Kuno Yiga yagattako okwambulula abantu abaalinanga ebizibu eby'enjawulo. Yiga emirimu yagitambuza bulungi n'akuguka.

Ng'ebikwatagana n'okwambulula musuffu. Yatuuka ekiseera n'abeera nga y'omu ku bavubuka abato kwe nnali nsibidde olukoba. Nga bwe sibaawo, nga gwe ndekera obuvunaanyizibwa okukola ku balwadde. Kyokka olumu byantabula bwe nnafuna amawulire okuva mu balwadde nga bantegeeza nti omukongozzi baali tebakyamutegeera kubanga ebigambo bye baali bamanyidde nga jjajja nnakazaana takyabikozesa. Ayogera "mu linnya lya Yesu".

Nnateeka ku Yiga abakessi mu 2000 ne nkizuula nga yali avudde ku mulamwa ng'akola emirimu ebiri ogw'obusamize n'okulokoka. Nnamubuulira amazima nti mukwano gwange tetujja kukwatagana nze omusamize naawe omulokole. Nkusaba twawukane mu mirembe. Bwe tutyo ne twawukana.

BADDAMU OKUSISINKANA NGA IGA AKOZE EKKANISA                                                                                                                                    Nnamala ekiseera nga simanyi Yiga gy'ali wadde ebimufaako. Olumu nnali ntudde mu maka gange amalala e Kawaala, nnawulira abakuba ebigoma nga birekaana nnyo. Bwe nnabuuza nnategeezebwa nti waliwo abalokole abaali bakoze ekkanisa ku kyalo nga be bakuba ebigoma n'ebbaafu.

Kyanneewunyisa bwe nnatuuka awavugira ebigoma nga ku Yiga kwe nkuba eriiso era ffenna twasanyuka okuddamu okusisinkana. Okuva olwo yatandika okunneebuuzaako ku bintu ebyenjawulo naddala ku ngeri gy'asobola okutundamu ekkanisa ye. Amagezi ge nnamuwa gaamuyamba nnyo era mu bbanga lya myezi etaano yali awezezza abagoberezi abali mu 1,000.

Yiga akamu ku bukodyo bwe yatandikirako kwe kweranga ku leediyo ya Beat FM, n'atandika okugamba abantu nga bw'alina obusobozi obuzzaayo eddogo lye baba bakusindikidde. Wadde nga yalumbibwa Basumba banne nga bavumirira byakola, ye yeewolereza ng'agamba nti Bayibuli yamukkiriza okubizzaayo, mu kitabo Zabbuli 35:26 - amaaso gange ganaasanyuka nga galabye akabi nga katuukiridde eri abalabe bange.

OKWAGALA ABAKAZI ABADDE AKYESIGAMYA KU BAYIBULI                                                                                                                             Olumu mukyala wa Yiga omukulu yanoba n'agenda e London yantuukirira n'ansaba njogereko ne mukwano gwange akendeeze ku bwenzi kuba yali asusizza obutayisa sikaati. Nnayogera ne Yiga. Yakyanukula mangu bwe yaggyayo Bayibuli n'asoma Omubuulizi 9:9-10 awagamba nti:Beeranga n'omukazi gw'oyagala ennaku zonna ez'obulamu bwo…essanyu likoma ku nsi.

Yiga yantegeeza nti wano w'asinziira okuganza omukazi yenna abeera amusanyusizza. Gye byaggweera ng'omukazi embeera emulemeredde era n'anoba. Okuva olwo nze nkola gya busamize nga Yiga ye Musumba. Kyokka tubadde tukolagana mu bintu bingi. Era emyezi esatu emabega bwe twali twogera yantegeeza nti: Tukoze ffenna ebintu bingi, kyokka tulina okulowooza ennyo ku mukululo gwe tugenda okuleka ku nsi.

Ekirungi nze Yiga ntendese mutabani wange era mmanyi emirimu gyange ajja kugitwala mu maaso. Twayogera ne ku musumba Jackson Ssenyonga eyali awalampa Yiga awatali kusalako. Nnawa Yiga amagezi yeesonyiwe Ssenyonga kubanga anoonya kwogerwako naye nga talina mulamwa.

Ebbanga lyonna Yiga ly'amaze nga mulwadde tubadde tuwuliziganya era ne mu biseera nga muyi okutuuka okufa, mukyala we Jackie Babirye eyayimba "omwana wa musajja" abadde ambuulira buli ekigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...