TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuntu anaakulaakulana alina okufissa ku ssente n'azitereka

Omuntu anaakulaakulana alina okufissa ku ssente n'azitereka

Added 31st October 2020

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya ebyenfuna ye. Olwaleero lwe lunaku lw’ensi yonna olw’okutereka ssente (World Savings Day) era bbanka ya Uganda Enkulu ng’eyita mu bakugu mu byenfuna ewadde abantu amagezi ku ngeri y’okuterekamu ssente.

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n'afissa ku ssente z'afuna n'atereka okusobola okugaziya ebyenfuna ye. Olwaleero lwe lunaku lw'ensi yonna olw'okutereka ssente (World Savings Day) era bbanka ya Uganda Enkulu ng'eyita mu bakugu mu byenfuna ewadde abantu amagezi ku ngeri y'okuterekamu ssente.

Charles Ocici.

Charles Ocici, akulira ekitongole kya Enterprise Uganda agamba nti amaanyi g'okutereka gali mu muntu okufuba ne yeeresa okulya n'okwejalabya n'asobola okufissa z'aterekera ebiseera eby'omu maaso. Ssente eziterekebwa ziyamba omuntu okugaziya ennyingiza mu biseera eby'omu maaso kubanga bw'atereka n'awezaawo asobola bulungi okufuna entandikwa n'atandikawo omulimu ogugwe ogumuwa amagoba nga teyeewoze n'asobola okugaziya ensawo ye.

Ocici agamba nti si kyangu okutereka naye omuntu ateekwa okubeera n'enkola gy'agoberera ennambulukufu n'obeera nga togivaako. Kino kye kintu ky'osobola okweyingizaamu wekka.

  1. Bw'obeera otereka olina okufuba okumanya ani gw'oteresa ssente zo kubanga oyinza okuzitereka ng'ofuba kwekulaakulanya ate gw'oziwadde n'abulawo nazo. Ekisinga obukulu ye muntu okusalawo okutereka ate n'atandikirawo.
  2. Olina okukola embalirira kikuyambe okumanya ennyingiza n'ensaasaanya olabe oba osobola okufissawo k'otereka nga kawera. Kyokka ekirungi mu kutereka, osobola okumanya ennyingiza yo kubanga omanya kiseera ki ekituufu w'onoofunira ssente.
  3. Bw'omala okutereka olina okutandikawo ky'ossaamu ssente era obugazi bwa bizinensi gy'otandika businziira ku nsimbi z'oterese.
  4. Okutereka tekikoma ku muntu ssekinnoomu. Ne bw'ebeera gavumenti ng'esobola okutereka ssente z'eyingiza kigiyamba okwetengerera mu bbajeti yaayo. Eggwanga eriyimirizaawo ebyenfuna byalyo nga lyesigama ku kwewola n'okusabiriza terisobola kwetengerera mu byenfuna n'ebyobufuzi.                                                                                                                    OKUNOONYEREZA KU KUTEREKA                                                                                                                                                            Okusinziira ku nteekateeka ya Uganda ey'emyaka etaano (2017-2022) emanyiddwa nga The Republic of Uganda National Financial Inclusion Strategy 2017- 2022, omuwendo gw'abantu abatereka ku ssente gwalinnya okuva ku bantu 42 ku buli 100 mu 2006 okutuuka ku bantu 68 ku buli 100 mu 2013.                                                                                                                                           Kyokka omuwendo gw'abantu abakulu abatereka mu bifo ebitongole nga bbanka ne SACCO gwalinnya kitono, wakati wa 2009 ne 2013 baali 16 ku buli 100 bokka. Abasajja beeyunira nnyo okutereka mu bbanka okusinga abakyala. Ensonga eyazuulibwa eremesa abantu okutereka kwe kubeera nti tebalina mawulire matuufu ku bikwata ku kutereka.                                                  Lipooti eraga nti omuntu atereka mu kitongole, bbanka enkulu kye yawa olukusa okukola emirimu abeera mukakafu nti bbanka eyo ne bw'efuna obuzibu asobola okuliyirirwa n'afuna ssente ze kubanga bbanka yateekawo ekitongole kya Deposit Protection Fund ekikola ku nsonga eno.                                                                                                                                                                      Okunoonyereza kwazuula nti abantu basinga kwettanira kutereka mu mayumba gaabwe ne kuddako SACCO z'oku byalo ne ziddirirwa ebibiina bye bakola okwewola nga beetooloola mu bammemba nga bw'ofuna leero ate wiiki eddako mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.