TOP

Katikkiro Mayiga awabudde abasumba b'abalokole

Added 31st October 2020

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze okukubagiza abagobere ba Pasita Augustine Yiga Mbizzaayo e Kawaala. Mayiga yabasabye, okweyogerera amafukuule n'okwerangira mu Basumba babikomye kubanga tekiriimu kalungi konna.

"Mpulira nnyo okuyombagana n'okweyogerera ebisongovu mu Basumba b'Abalokole abamu. Ebigambo ebyo abantu babitaputa mu ngeri ndala noolwekyo, buli muntu yandibadde awa munne ekitiibwa n'ekkanisa okutwalira awamu," Mayiga bwe yagambye.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera ne Jengo e Kawaala.

Yayongeddeko nti, Abasumba b'Abalokole bandibadde bakoppa enkolagana wakati w'Eklezia, Ekkanisa ya Uganda n'Obusiraamu abakulembeze gye baaniriza buli abakyalidde okuva mu nzikiriza endala n'agamba nti, kino kijja kubayamba okunyweza obumu wamu n'okusitula embeera z'abagoberezi mu bulamu obwabulijjo.

Yatenderezza Yiga olw'okwagala Obwakabaka nga mu kiseera ky'okukuhhaanya ettofaali, Yiga yamuwandiikira ng'amusaba okukyalako ku kkanisa ye era yagambye nti, bwe yali mu Lubaga North nga September 7, 2014, yatuukako ku kkanisa ya Yiga n'amutikka ettoffaali ezzito n'ebirabo ebirala.

Mayiga yawerekeddwako omwogezi w'Obwakabaka, Noah Kiyimba n'ayanirizibwa Omwami wa Kabaka mu ssaza ly'e Kyaddondo, Agnes Nakibirige Ssempa ne Pasita Andrew Jjengo mutabani wa Yiga. Mayiga yagambye nti, olw'ebirungi Yiga by'akoledde Obwakabaka, baabadde balina okukungubagira awamu n'abagoberezi n'agattako nti, ssente ezaazimba Masengere ne bbugwe ku Masiro e Kasubi, balinako ettoffaali ddene.

" Pr. Yiga kyakulabirako nti bw'omalirira ne wekwata Katonda, otuuka ku birungi. Omwoyo guno gwe twagala naddala mu bavubuka. Jjengo wadde oli Pasita sigaza omwoyo gwa Buganda ogutafa.Oli muzzukkulu wa Nsamba, weddira Ngabi, Kabaka kitaawo, ekyo tokyerabiranga," Mayiga bwe yayogedde.

Katikkiro olwavuddeyo, omusumba w'ekkanisa ya Lubaga Miracle Center Cathedral, Robert Kayanja ne mukyala we Jessica Kayanja ne bayingirawo mu bukuumi obw'amaanyi. Zaabadde zikoona ssaawa 4:00 ez'ekiro era baayaniriziddwa Jjengo n'amuyingiza mu kkanisa gye yayogeredde eri abakungubazi.

Kayanja yakubirizza abagoberezi ba Yiga okunywerera mu kkanisa wadde ng'abadde agikulira avuddewo basobole okugizimba n'okugitwala mu maaso n'omusumba asigaddewo. Yabategeezezza nti y'engeri yokka gye bayinza okulaga nti balumiddwa olw'omusumba wabwe ayagenze.

"Nga tujaguza obulamu bwa Yiga, buli muntu akole ky'asobola okulaba nga obuweereza bunywezebwa, muyitimule ekitiibwa ky'ekkanisa esinge bw'ebadde ng'omusumba Yiga w'ali, kino mukisobola singa musalawo okutambulira mu Katonda," Kayanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.