
Msgr. Katende ng’asala keeki. Mu ttaayi ye Katikkiro Mayiga ne mukyala we. Ku kkono ye Bp. Zziwa, Msgr. Semusu ne Wasajja (owookusatu ku ddyo) n’omuzaana
KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asiimye Msgr. Wynand Katende olw'okuweereza obulungi mu busosodooti bwe nga takoma kulyowa myoyo mu klezia naye ng'atuuka ne mu maka g'abantu ne mu bifo gye bakolera okulaba ng'abunyisa ekigambo kya Katonda.
"Msgr Katende toli musosodooti waabulijjo kubanga gw'omu ku baayambaza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, engule e Naggalabi mu 1993 , era ekikwata ku buwangwa n'ennono buli omu akumanyi bulungi nti weenyigiramu," bwatyo Katikkiro Mayiga bwe yategeezezza.
Bino Katikkiro Mayiga yabyogeredde ku mukolo Msgr. Katende kwe yajagulizza emyaka 40, mu busosodooti ogwabadde e Namugongo mu kifo ky'olusirika ekimanyiddwa nga"EKYOTO". Ku mukolo guno kwe baatongolezza okuzimba wooteeri omugenda okusulanga abalamazi abajja e Namugongo buli June 3 okujjukira Abajulizi.
Wooteeri eno bagituumye "Pilgrims House" wadde Katikkiro Mayiga yabawabudde nti bagituume "Ennyumba y'abalambuzi" kubanga Abazungu be balina okufuba okumanya amakulu g'ebigambo by'Oluganda bwe babivvuunula mu Lungereza. Omukolo guno kwetabiddwako n'abagagga ba Kwagalana nga baakulembeddwamu ssentebe waabwe, Godfrey Kirumira eyakulembedde omukolo gw'okusonda ssente ezitandika okuzimba era beesonzeemu obukadde 42, ne beegattibwako abantu abalala okukkakkana nga bawezezza obukadde 67.
Wooteeri yaakuwemmenta obuwumbi mukaaga ng'ewedde. Msgr Katende yeebazizza Katonda okumulung'amya n'asoma obusosodooti. Yagambye nti eky'okubeera n'omugenzi Bp. Kawuma okutikkira Kabaka engule ku lusozi e Naggalabbi kyamufuula ow'eddembe mu mutima gwe era n'atendereza Kabaka okubalondera Katikkiro Mayiga olw'obukozi.
Yasiimye banne bwe baayingira obusosodooti abazze okumujagulizaako okwabadde n'omusumba Joseph Anthony Zziwa ow'e Kiyinda Mityana.