TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kituufu ebigere bya Nabbi Omukazi biriko amafuta?

Kituufu ebigere bya Nabbi Omukazi biriko amafuta?

Added 1st November 2020

Abantu nga bagenda ewa Nabbi omukazi okubasabira.

Abantu nga bagenda ewa Nabbi omukazi okubasabira.

Magie Kayima amanyiddwa nga Nabbi omukazi azze na nkuba mpya. Bwe yabadde mu lumbe e Kawaala ng'akungubagira eyali bba, omugenzi Yiga Abizzaayo, yawuuniikirizza abantu bwe yabategeezezza ng'ebigere bye bwe biriko amafuta agagaba obugagga.

Nabbi Omukazi ng'asabira omusajja. Osooka kusiga nsigo.

Abamu ku bakungubazi bakkiriza by'ayogera ne batandika okwesomba okufuna emikisa gy'obugagga kyokka ng'okukusabira osooka kuteeka ssente manya ‘ensigo' mu kisero kye yazze nakyo. Omanyi Nabbi Omukazi y'omu ku bayimbi abaakubidde abantu omuziki mu kivvulu kye baayise ‘‘okusiibula Yiga'' nga kyetabiddwaamu abayimbi abakooka ennyimba z'eddiini n'ez'ensi.

Bwe yatuuse ku luyimba ‘'Nabbi Omukazi'' n'ategeeza nti Yiga nga tannafa yaleka amugambye nti buli lw'ayimba oluyimba luno alina okusabira abantu kubanga lujjudde obubaka bwa mwoyo mutukuvu. Kwe kulagira abantu abaabadde mu lumbe ng'Ekkanisa ekubyeko nti awulira amafuta ku bigere bye.

Genda ofune obugagga. Omusajja nga bamusabira.

Yasabye buli muntu okuggyayo ensigo gy'alina agiteeke ku bigere bye nga bwasaba ebintu bisatu by'ayagala era agenda kubifuna mbagirawo. Abantu baatandikiddewo okwesomba era obwedda bakanyama balwanagana nabo obuteerinnya.  Kyokka abamu ku bakungubazi baawuliddwa nga beewuunaganya ng'abalokole bwe bamanyi okunoonya ssente nga beebuuza engeri ebigere by'omuntu gye biriko emikisa egigaggawaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...