
ENNUNDA Y'EMBUZI EZZA AMAGOBA
Kyokka bw'oba olunda embuzi kirungi okusooka okwekenneenya olulyo lw'ogenda okulunda .
Muawiya Mukasa omulunzi w'embuzi e Nakaseke agamba nti agatta olulyo lwa Savana ne Boer n'afuna olulyo olulungi .

Kirungi okulondoola ebiwandiiko by'embuzi z'oyagala okulunda okuviira ddala ku ddundiro gy'oziggya okumanya ebizikwatako naddala olulyo n'endwadde ezizitawaanya .

Embuzi ziwomerwa omuddo omuto ddala ogw'akafubutukayo mu ttaka . Zaagala okulya nga zikangabadde nga bwe zikooza ebikoola ebiri ku matabi agali waggulu .
Zeetaaga okugabirira emmere erimu ekiriisa ekizzaamu amaanyi nga caccu, omuddo omukalu .Wabula wewaale okuziwa emmere erimu empumbu kubanga ezirwaza .

Embuzi bw'oba ogirabiridde bulungi ewakira wakati w'emyezi 8- 10. Ate emala emyezi mukaaga n'ezaala .
Yadde embuzi tezitera kulumbibwa ndwadde naye olina okuziwa eddagala eritta ebiwuka mu lubuto kubanga zirya obuddo obwa wansi obubaako obuwuka.