TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatunze ku kibanja kye bamusse ne batwala ssente

Eyatunze ku kibanja kye bamusse ne batwala ssente

Added 2nd November 2020

EMIRANGA n'okwaziirana bibuutikidde abatuuze ku kyalo Buyaga ekisangibwa mu ggombolola y'e Busukuma mu disitulikiti y'e Wakiso, ssemaka ow'emyaka 52 bw'atunze ekibanja kye obukadde busatu (3,000,000/-) kyokka abadde tannatuuka waka ne bamuteega ne bamutta omulambo ne bagusuula ku ttale.

EMIRANGA n'okwaziirana bibuutikidde abatuuze ku kyalo Buyaga ekisangibwa mu ggombolola y'e Busukuma mu disitulikiti y'e Wakiso, ssemaka ow'emyaka 52 bw'atunze ekibanja kye obukadde busatu (3,000,000/-) kyokka abadde tannatuuka waka ne bamuteega ne bamutta omulambo ne bagusuula ku ttale.

Atanansi Kulubya abadde amaze wiiki nnamba ng'anoonyezebwa oluvannyuma lw'abatuuze okumala ennaku eziwera nga tebamulaba.

Abatuuze nga batwala omulambo gwa Kulubya.

ENGERI KULUBYA GYE YATTIDDWA                                                                                                                                                         Kigambibwa nti Kulubya olwamuwadde ssente, abaamusse baamuvuddeko mabega era kirowoozebwa nti yabadde abamanyi nga bwe baatuuse mu kifo ekyekusifu ewatali bantu kwe kumukuba akabazzi ku mutwe ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ku ttale nga ne ppikippiki ye kwe yali, nnamba UDP 290D baagireka awo.

Kulubya eyattiddwa.

ENGERI OMULAMBO GYE GWAZUULIDDWA                                                                                                                                                Omulaalo eyabadde alunda ente ku ttale ye yalengedde ppiki wabula ng'alowooza nti nnannyini yo alina w'ali wabula kyamwewuunyisizza okugirabawo okumala ennaku ssatu. Wabula omulundi ogwokuna bwe yazzemu okugisangawo n'afunamu okwekengera kwe kwetuukirawo nga wano asazeewo okwetuukirawo ng'ekyennaku yasanzeewo mulambo gwa Kulubya kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze ne bayita poliisi okuva e Kasangati.

OMULAMBO GWABADDEKO EBISAGO EBYAMAANYI                                                                                                                               Omulambo gwa Kulubya gwabaddeko ebisago ku nkoona (emabega ku mutwe) nga kiraga nti baamuva mabega ne bamutemula era n'embiriizi zaabaddeko ebisago nga kirabika okumutta baakozesa ejjambiya n'embazzi.

POLIISI EZUDDE EMBAZZI EYAKOZESEDDWA OKUMUTTA                                                                                                                                      Poliisi bwe yanoonyerezza, eriko embazzi gye yaguddeko mu kifo we baakoledde ettemu lino ng'eriko omusaayi nga nayo baagikasuka ku ttale. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti baatandise okunoonyereza ku b'ani abagambibwa okubeera ku kkobaane nga wano yasabye abatuuze abalina kye bamanyi okugenda ku poliisi y'e Kasangati okuyambako mu kunoonyereza era nti omulambo gwa Kulubya gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ekkulu e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...