
Ono obwedda ebifaananyi abikwatira wansi wa mmotoka.
POLIISI esiiwuuse empisa n'ekuba bannamawulire ababadde bakola emirimu gyabwe. Bannamawulire ba Bukedde Ttivvi okuli Ronald Kakooza ne David Ssekayombya, ku Lwokubiri baalozezza ku bukambwe bwa poliisi e Najjanankumbi bwe baabadde bakwata ebifaananyi by'abaserikale nga batulugunya omuvubuka eyabadde yeekalakaasa ku lw'e Ntebe.
Atwala poliisi y'e Katwe, Abraham Niwagaba y'omu ku baalabikidde mu bifaananyi ng'akuba bannamawulire bano era nga Kakooza yakwatiddwa ng'omubbi n'ateekebwa ku kabangali n'atwalibwa ku poliisi y'e Katwe. (Abaserikale nga basindika Kakooza okumuyingiza wansi wa kabangali.)
Wabula oluvannyuma lwa bannamateeka ba Vision Group okubiyingiramu, yayimbuddwa ne kkamera ye n'emuddizibwa. Muhammad Ssendegeya akulira bannamawulire mu Buganda yategeezezza nti baatandise dda okunoonyereza ku bikolwa bino era bagenda kuvunaana aba poliisi ssekinnoomu nga batandikira ku Niwagaba.