TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eri ku muyiggo gw'abantu abasse munnaabwe

Poliisi eri ku muyiggo gw'abantu abasse munnaabwe

Added 5th November 2020

Abatuuze nga bakung'aanye we battidde munnaabwe.

Abatuuze nga bakung'aanye we battidde munnaabwe.

Poliisi e Mukono eri ku muyigo gw'abantu basatu olw'okukakkana ku mutuuze munnaabwe ne bamufumita ekiso mu kifuba ekimuttiddewo. Abaliira ku nsiko kuliko: omwana eyategeerekeseeko erya Innocent ow'emyaka 15, nnyina Scovia Auno ne bba Okello nga bonna batuuze ku kyalo Lwanyonyi mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti mu kiro ekyakeesezza ku Lwokuna mu bbaala ya Auno, wabaluseewo olutalo wakati w'omugenzi Joseph Mathew Engenyi 38, ng'ono abadde akola gwakuweereza ku bizimbe ne Auno. Kigambibwa nti Auno yabadde abanja wuufa gye yali yamwazika era wakati mu luyombo luno Innocent ng'ono mutabani wa Auno yalwegasseemu ne batandika okuvuma Engenyi.  

Onyango yategeezezza nti omugenzi eyavudde ku bbaala ya Auno we yabadde anyweera yannenyezza omwana ono okumuvuma ne nnyina era wano omugenzi yeefudde abivuddeko wabula omwana mu kudda yakomyewo n'akambe n'amufumita mu kifuba n'amutta.

Aba famire bwe baategedde nti Egenyi afudde, bonna badduse nga mu kiseera kino baliira ku nsiko. Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...