
Kironde (ku kkono) ne minisita Muyingo nga batongoza akabonero k'ekibiina.
ABAKULIRA amasomero g'obwannannyini basabye gavumenti eggulewo okusoma kw'abayizi aboolekedde ebibiina eby'akamalirizo batandike okubateekateeka ng'obudde bukyali.

Okusaba kuno baakukoze batongoza ekibiina kyabwe ekibagatta kye baatuumye ‘'Proprietors of Private Education Institutions Association in Uganda'' (PPIEAU) ne bategeeza nti abayizi abali mu bibiina ebiddirira ebyakamalirizo basaana baddemu okusoma basobole okwetegekera omwaka ogujja ng'abamaliriza bafulumye.
Ssentebe w'ekibiina kino, Micheal Kironde owa Janan Schools yategeezezza Minisita w'ebyenjigiriza ebyawaggulu, Dr. JC Muyingo nti nga bwe baategeka okusomesa abayizi abamaliriza era beetegefu okukozesa enkola y'emu ku bayizi bano aba P.6, S.3 ne S.5 ne basaba babakkirize nabo baddemu okusoma.
Kironde era ategeezezza nti bafubye okutambulira ku biragiro ebyabaweebwa minsitule era n'abalala bwe banabakkiriza bajja kukola kyekimu. Minisita Muyingo abagumizza nti minsitule eri mu ntegeka okulaba ng'ebibiina ebyo biggulwawo n'abasaba okwongera okunyweza ebiragiro ebyabaweebwa obutasasaanya kirwadde kya ssennyiga omukambwe.
Baabadde ku Sheraton Hotel mu Kampala ku Lwokuna.