
Abakungubazi nga basitudde mayiti ya Kaliisa.
Omugenzi Dr. Anas Kaliisa 70, ayogeddwako ng'atobye n'ensi okuva e Ntungamu - Ankole gye yazaalibwa n'afuuka omuntu ow'amaanyi mu ggwanga era omu ku batono abalina diguli mu byeddiini y'Obusiraamu.

Eggulo baamusaalidde mu muzikiti e Kibuli ku mukolo ogwabaddeko abamu ku beesimbyewo ku Bwapulezidenti okuli Mugisha Muntu, Bobi Wine ne Henry Tumukunde. Muto w'omugenzi ayitibwa Mufti Kaliisa yagambye nti kitaabwe Abdunoor Kaliisa ow'e Ntungamo eyafa mu 1978 yazaala abaana 18 kyokka ng'obuvunaanyizibwa bw'okubakuza yabulekera mukulu waabwe Anas Kaliisa.
Mu kiseera kino basigaddewo abaana 13 nga Kin Kaliisa akulira NBS y'asembayo obuto. Bwe yamala okuweerera baganda be ate n'addayo okusoma e Makerere gye yafunira diguli eyookubiri n'eyookusatu ey'Obwadokita. Ssente yazigyanga mu busomesa. W'afiiridde ng'atuula ku lukiiko olukulu olulamula ensonga z'Obusiraamu mu nsi yonna olwa World Jurisprudence Academy ng'akiikirira Afrika.

Abadde mumanyi ku nsonga z'Obusiraamu mwalina diguli okuva ku Islamic University of Medina e Saudi Arabia ne satifikeeti mu byamateeka okuva e Makerere. Y'abadde ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Salam TV era nga ye yatandika ekibiina kya House of Zakkah and Waqf mu Uganda. Era nga y'akulira Salaam Charity.
Alese abaana 13. Mu kusaala e Kibuli, Gavumenti yakiikiriddwa omumyuka owookubiri owa Katikkiro Ali Kivejinja n'omumyuka wa ssentebe Hajji Moses Kigongo. Sheikh Noor Muzaata yabawadde bonna omukisa okwogera Robert Kyagulanyi yasuubizza bw'anakwata obuyinza ajja kuyimbula Abasiraamu abaasibirwa obwereere n'okubalonda mu bifo ebisava. "Tekigenda kuddamu okulaba omukyala omusiraamu ng'agaanibwa okusiba akatambaala ng'agenda okwesimbawo.

Abasiraamu abagenda okubeera ab'amaanyi mu ggwanga si be b'emyaka 80, wabula ba Muwanga Kivumbi, Kazibwe Bashir. Mu Ghetto nja kugenda nziggyeyo ba Ibrahim Ssegirinya," bwe yagambye. Henry Tumukunde yatenderezza Kaliisa nti alese omukululo era tumuyigirako bingi. Gen Mugisha Muntu yasabye abantu okubalabira ku bikolwa so si bye boogera.
Yasuubizza okuleetawo obukulembeze obulimu obwenkanya abantu b'enzikiriza zonna mwe basobola okweyagalira. Kivejinja yasomye obubaka bwa Pulezidenti Museveni Hajji Kivejinja yawaddeyo amabugo ga bukadde 20 ku lwa Pulezidenti. Lt. Col. Edith Nakalema akulira ekitongole ekirwanyisa obulyi bw'enguzi mu maka g'obwapulezidenti ekya Anti- Corruption Unit yamwogeddeko ng'abadde agoberera ennyo ebyobufuzi, akoleredde nnyo enkulaakulana y'eddiini era asomesezza ebintu bingi ebimujjukirwako. Abadde mwoyo gwa ggwanga.

Suprem Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga baasaasidde omulangira Nakibinge olw'okuviibwako mukwano gwe Kaliisa. Nakibinge yavumiridde ebikolwa by'okulemesa abavuganya abamu okwogerera ku mikutu gya mawulire. Wadde ng'obulwadde bwa Corona weebuli.
Kaliisa aziikibwa leero e Nyakahita mu Ntungamo. Sheikh Kashangirwe ategezeaza nti Kaliisa abadde asasula emisaala gya ba Imaam musanvu era ng'aliko be yagulira obugaali kwe batambulira. Emizikiti gyonna e Ntungamu agitaddeko ettofaali. Kaliisa abeera Kawempe Mbogo. Baamogeddeko ng'alese eddibu.

Zahara Nalunkuma abeera ewa Kaliisa yagambye ntgi ku Lwokusatu lwe yafudde yakedde kukola dduyiro n'alya ekyenkya n'agenda okukola. Yakomyewo ku ssaawa 10.00 ez'olweggulo n'ayingira mu kisenge. Twazzeemu okuwulira ng'afudde.
EBIKWATA KU MUGENZI KALIISA Dr. Annas Kaliisa yazaalibwa omugenzi Abdunoor Kaliisa owe Ntungamo nga b'abazaala abaana 18, kyokka nga mu kiseera kino basigadde 13. lAbadde musomesa omutendeke eyeebuuzibwako ku nsonga z'obusiraamu. Abadde alina diguli ssatu mu by'amateeka. lOkufa kwe teyalwadde kuba yakedde kukola duyiro n'agenda okukola.
Yakomyewo ku ssaawa 10 ez'olweggulo n'asaba mukazi we okumuwa eky'okulya. Kyokka yagenze okuleeta eky'okulya yamusanze agalamidde ku buliri ng'ebigere biri ku ttaka era okumukwatako ng'amaze okufa.