
Abaserikale (ku ddyo) nga bakuuma ente.
BULI awali emmaali y'omugenzi Angello Kasirye Tuweereza, baayiyeewo abaserikale ba UPDF, LDU ne bakanyama. Bw'otuuka ku ffaamu awali amaka ge, bbeekeeri y'emigaati eya Tuweereza e Nateete ne bizinensi endala byonna bikuumibwa butiribiri.
Ensonga eyaleesezza amagye yabadde ekyatankanibwa kyokka nnamwandu omukulu, Gorreti Kasirye abeera e Sseguku yagambye nti, bizinensi z'omugenzi ziyingiza ssente nnyingi eza buli lunaku ng'abakozi bwe baba tebaliiko bukuumi bayinza okunyaga ssente y'ensonga lwaki baabadde balina okuteekawo obukuumi.

"Omuntu bw'afa abantu babba buli kye basanze, ejjiiko, emirawo, amasseffuluya ate Kasirye abadde n'ente. Omuntu ayinza okugamba kangobeyo emu ate ani ankwatako, awo baba balina okuteekayo amagye ne poliisi." Omu ku mikwano gya ffamire ya Kasirye bwe yagambye.
Kyokka abamu bakalambira nti, ababbi abaabulijjo si y'ensonga eyatwazizza amagye ku bintu by'omugenzi ne bagamba nti, waliwo ensonga endala nabo gye bataayatuukirizza. Kasirye yafudde ku Ssande mu ddwaaliro lya Norvik ku Bombo Road mu Kampala kyokka aba ffamire baamubise ku Lwakubiri akawungeezi.
Emmaali ya Kasirye kwe batadde obukuumi kuliko, bbeekeeri ya Tuweereza e Nateete ku Ttaano, Tuweereza e Masaka n'e Mbarara. Bbeekeeri ya Daily Loaf ku Sir Apollo Kaggwa Road ettabi e Masaka n'e Mbarara, ffaamu obwaguuga e Kireka - Bbira, ffaamu endala e Jjeza ku lw'e Mityana n'e Mubende.

Emmaali endala kuliko ettaka eddene e Nateete ku ttaano, ppaaka ya takisi ezidda e Nakawuka esangibwa e Nateete, ekyuma ekikola ehhaano ekiyitibwa Tuweereza Mill Flour e Nateete ku Ttaano, ekizimbe e Mbarara, Mityana kwe yali atadde kkampuni ewola ssente. Amaka ag'amaanyi e Jjeza, e Lubaga alinawo amaka aga kkalina, amaka amalala e Makindye ag'amaanyi, alina ag'e Sseguku mukyala mukulu gy'abeera.

YALAAMA OBUTAMUBIKKULA Eggulo ku makya, Gen. Katumba Wamala yatuuse e Bbira - Kireka mu maka ga Kasirye era omu ku ba ffamire n'amutegeeza nti, omugenzi yalaama obutabikkula mulambo gwe bantu kugukubako liiso vvannyuma era kino baasazeewo okukikola nga bwe yasalawo.
Yayongedde okumutegeeza nti, bamulekwa bonna abasoba mu 100 Kasirye b'alese, baatwaliddwa mu kkampuni eyapangisiddwa okukola ku by'okuziika Kasirye bakube ku mulambo gwa kitaabwe eriiso evvannyuma. Bwe gwaggyiddwaayo, baasoose kugutwala ku bbeekeeri ya Tuweereza e Nateete abakozi we baakuh− haanidde okugukubako eriiso evvannyuma olwo ne gutwalibwa mu maka ge e Bbira.