TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katumba Wamala ne Ntakke be bakuliddemu eby'okuziika Tuweereza

Katumba Wamala ne Ntakke be bakuliddemu eby'okuziika Tuweereza

Added 6th November 2020

Faaza Kaganda ng’asembeza Omukristu.

Faaza Kaganda ng’asembeza Omukristu.

Ssentebe w'akakiiko akaalondeddwa okuziika Kasirye, Guster Lule Ntakke yagambye nti, ekiro ekyakeesezza leero (Lwakutaano), baasuze basaba n'okukungubagira Kasirye. Leero ku Lwokutaano, omulambo gwa kutwalibwa e Masuliita ku kyalo Nakakungube gye bagenda okumuziika ku Lwomukaaga ku ssaawa mukaaga ng'eno wagenda kusookawo Mmisa.

Omugagga Ntakke.

Ate Gen. Katumba Wamala yagambye nti ekyabagatta ne Kasirye bwe bulunzi. "Abadde musajja mutetenkanya era abavubuka bandimulabiddeko yadde teyasoma. Abadde teyeegulumiza," bwe yagambye.

EBYABADDE MU KUSABA                                                                                                                                                                                            Ku Lwokuna ku makya, waabaddewo Mmisa y'okusabira omwoyo gwa Kasirye mu maka ge e Kireka - Bbira okwakulembeddwa Fr. Kizito Kaganda ow'ekigo ky'e Kitende. Yakubirizza abantu bwe baba baliko kye bakola bakikole n'amaanyi baleke omukululo nga Kasirye gw'alese.

Yagambye nti, buli kye bakola, balina kukikola na bwerufu kubanga obulamu si bwaffe bwa Katonda era y'asalawo ddi lw'abutwala. "Kasirye akoze n'obumalirivu n'amaanyi n'aleka omukululo ku nsi era mumulabireko, ebyamusobako ku nsi mubimusonyiwe." Fr. Kaganda bwe yagambye.

Abakola ku nteekateeka z'okuziika baakedde kugula embugo 100 mwe bagenda okumuziika ng'omugenzi bwe yalaama. Mikwano gya Kasirye gyeyiye mu maka ge e Bbira okuva lwe baategedde okufa kwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...