
Kamal Harris.
Kamala Harris, 56 ataddewo ekyafaayo ng'omukazi asoose okubeera omumyuka wa Pulezidenti wa Amerika. Okwo agattako okubaamu omusaayi gw'Abayindi n'Abajamaica. Maama we nga yafa mu 2009 ye yali Shyamala Gopalan yagenda mu Amerika okusoma mu 1958 ku myaka 19 n'azaala Kamal Harris mu 1964.
Kitaawe ye Polof. Donald Jasper Harris 82, Muddugavu eyava e Jamaica nga baasisinkana ne Gopalan ku yunivasite ne batandika omukwano. Tewali Muddugavu yali abadde mumyuka wa Pulezidenti wa Amerika okuggyako Kamala. Mu 2011 Kamala yalondebwa okubeera Ssaabawolereza w'essaza ly'e California okutuuka 2017 era n'aba nga ye mukyala Omuddugavu eyasooka okubeera mu ofiisi eno mu ssaza lino.
Yalinnya eddaala mu byobufuzi n'ayingira mu lukiiko lwa Senate ng'akiikirira California mu 2017. Kamala yazaalibwa Oakland gy'alina amaka ne bba Douglas Emhoff. Kamala yasisinkana Douglas mukwano gwe bwe yamuyita nti waliwo omusajja gwe yandifumbiddwa kyokka nga tamulabangako naye n'amwagalirawo ku olwo lwe yamulaba.
Douglas yamusanga n'abaana babiri, Cole ne Ella. Kamala olw'obutaagala kumuyita ‘stepmother' bakkaanya n'abaana bano bamuyitenga 'Momala' era lye bamuyita ne ku kyalo. Awagira enjaga okulimibwa n'okunywebwa ng'abantu tebakubwa ku mukono kyokka nga bassibwako mateeka kubanga kino kye kizibu ky'Abaddugavu ekisinga obunene mu Amerika.
Tawagira kalabba omuntu asibibwe obulamu bwe bwonna. Ye bba Emhoff balina obugagga bwa ddoola obukadde butaano n'emitwalo 80. Mu za Uganda bwe buwumbi nga 18. Mukazi Mukristaayo alina muganda we omu Maya Harris.