TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamu ku basuubuzi mu katale k'e Kasubi bazize akatale akapya

Abamu ku basuubuzi mu katale k'e Kasubi bazize akatale akapya

Added 9th November 2020

Abamu ku basuubuzi abawakanya eky’okubatwala mu katale akapya ke bagamba nti kafunda.

Abamu ku basuubuzi abawakanya eky’okubatwala mu katale akapya ke bagamba nti kafunda.

NSALESSALE w'abasuubuzi ab'omu katale k'e Kasubi akakadde okusenguka okudda mu katale akampya wa leero ku Mmande kyokka abamu ku basuubuzi basuze bawera okusimbira ekkuuli enteekateeka za KCCA ez'okubasengula.

Ku Lwomukaaga abakungu ba KCCA nga bakuumibwa poliisi n'amagye baayise mu katale nga bawa abasuubuzi nsalessale wa Mmande (leero) nga bonna bavudde ku kkubo okudda mu katale akapya akaabazimbiddwa Gavumenti. Kyokka abamu ku basuubuzi oluvannyuma lw'okufuna amawulire gano baaweze nti si baakugendayo kubanga kubanga akatale kafunda nnyo mpozzi nga gavumenti ekagaziye nga bonna abasuubuzi 1,500 abakolera ku luguudo bagenda kwetaayizaamu.

Kyokka abamu baategeezezza nti, nti, wadde wafunda naye tebalina kyakukola era bano baatandikiddewo okugenda mu katale akapya okukwata ebifo mu bwangu wadde nga n'abamu baabadde bagenze n'ebintu byabwe kyokka baagenze okutuuka ku ggeeti ne balemesebwa okuyingira olw'okuba tebaabadde na kaadi ziraga nti balina emidaala mu katale.

Abasuubuzi abawakanya eky'okuyingira mu katale beegattiddwaako sipiika wa KCCA, Abubaker Kawalya eyayisizza ekizindaalo ng'akunga abasuubuzi obutagenda mu katale kapya kubanga kafunda era bannaabwe abamu tebalina we bagenda kukolera.

Ssentebe w'abasuubuzi Ronald Zzibu yabategeezeza nti amawulire g'okusenguka gaabatuuseeko era bagezaako okulaba ng'abasuubuzi baggweera mu katale kano. Era nti bakyalaba ngeri ya kufunza ku midaala. Zibu yategeezezza nti buli ludda abawagira n'abawakanya bonna balina ensonga kyokka balina okusooka okukkiriza akatono ke baakafunako olwo babanje okugaziwa.

Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabwine yagambye nti ekiseera kino buli ekyetaagisa abasuubuzi okudda mu katale kyateereddwawo nga basuubira nti olwaleero) bonna bagenda kuva mu luguudo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...