TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikulu ebiri mu manifesito ya NUP eyatongozeddwa

Ebikulu ebiri mu manifesito ya NUP eyatongozeddwa

Added 9th November 2020

POLIISI ebadde yaakamala okulabula Robert Kyagulanyi Ssentamu akomye okusuubiza okwongeza emisaala gy’abaserikale, n’addamu okukiggumiza nti bw’ajja mu buyinza asookera ku kwongeza misaala gy’abaserikale ba poliisi n’abajaasi ng’asookerwako afuna 1,000,000/-.

Bobi Wine bwe yabadde ava okwewandiisa poliisi n'emusalako.

Bobi Wine bwe yabadde ava okwewandiisa poliisi n'emusalako.

POLIISI ebadde yaakamala okulabula Robert Kyagulanyi Ssentamu akomye okusuubiza okwongeza emisaala gy'abaserikale, n'addamu okukiggumiza nti bw'ajja mu buyinza asookera ku kwongeza misaala gy'abaserikale ba poliisi n'abajaasi ng'asookerwako afuna 1,000,000/-.

Bobi Wine agamba nti abaserikale beetaaga okwongezebwa omusaala.

Yasinzidde mu kisaawe ky'e Kakyeeka - Mbarara ku Lwomukaaga nga NUP etongoza manifesito n'agumya Bannayuganda nti egenda kubeera nkola NUP okukulembeza abantu baabulijjo mu buli ekikolebwa. "Bannange mbategeeza nti kigenda kuyingira mu byafaayo abantu baabulijjo babeere n'obuyinza obusalawo olwo abakulembeze bafuuke abaweereza b'abantu," Kyagulanyi bwe yaggumiza.

Wabula yagenze okumalayo ebyo, n'aggyayo akatambaala okusangula amaziga nga bw'afeesa olwa ttiyaggaasi poliisi gwe yakubye mu kisaawe awaabadde omukolo. Kyagulanyi yagenze okwogera bino ng'omwogezi w'ekitongole ekinoonyereza ku misango mu poliisi, Charles Twine yaakasinziira ku Media Center n'amulabula akomye okusuubiza okwongeza emisaala gy'abaserikale kubanga bo bamativu n'ekitono kye bafuna.

  1. Ekintu ekikulu mu bukulembeze bw'eggwanga lyonna kwe kubeera n'abakukembeze abalowooza ku biseera eby'omu maaso ne balema kukolera abo abaliwo ekiseera ekyo bokka. Wano yakyukidde abantu n'abasaba batunuulire manifesito za NRM okuva 1996.
  2. Okulonda okuwedde baasuubiza nti buli mwana omuwala awezezza emyaka egigenda mu kasanvu bajja kumuwa ebikozesebwa kyokka kyalema. Olwo minisita w'ebyenjigiriza era mukyala wa pulezidenti n'ategeeza nti tewali ssente kyokka bafuna ze bawa ababaka ba palamenti okuyisa amateeka aganyigiriza n'okufuna ezigula abali ku ludda olubavuganya.
  3. Omuwendo gw'abayizi abawanduka mu masomero gweraliikiriza, abatandika P1 nga bali obukadde 12 osanga obukadde musanvu abatudde P7. Yagambye nti bino tabyogera kunoonya kalulu wabula waakukakasa nti buli Munnayuganda okuva e Karamoja okutuuka West Nile ne Busia mu buvanjuba baakweyagalira mu bulamu obulungi.
  4. Abasomesa baakuweebwa omusaala ogusaanidde, bafune ennyumba n'akasiimo nga bawummudde bakomye okubatyoboola nga babasasula luvannyuma lwa myezi esatu kyokka nga ze babawadde tezibamala kusasulira baana baabwe bisale bya ssomero.
    Bobi Wine agamba nti aba bboodabbooda balina okuyambibwa.
  5. Maama wange yali muzaalisa mmanyi obuzibu abasawo bwe bayitamu, olumu bakozesa tadooba okumulisa nga bajjanjaba n'okuzaalisa. Tujja kukakasa nti bafuna omusaala omusava ate bazifunire mu budde. Nkiddamu nti tewali nsonga lwaki abajaasi basula mu buyumba obubi omutali mazzi n'amasannyalaze. Embeera ya poliisi ekaabya emyaka 20 egiyise ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna kyalagira okuggyawo amabaati ekika kya ‘asbestos' kuba ga bulabe gavaako kookolo w'amawuggwe kyokka na buli kati ge gakyali ku nnyumba z'abaserikale.
  6. Abaserikale mu bitongole byonna baakwongezebwa omusaala, okulinnyisa amayinja n'okukugaba gy'onaakolera kikolebwe mu bwenkanya.
  7.  Abavubuka baakuweebwa emirimu egitegeerekeka era mu kisanja kya NUP ekisooka bagenda kutondawo emirimu obukadde butaano. Kino baakukikola nga gavumenti eteeka ssente mu makolero.
  8. Tewali muntu alina kuggyibwako ttaka mu ngeri emenya amateeka era gwe kituuseeko asaana okufuna obwenkanya.
  9. Makanika, owa bodaboda, ddereeva wa ttakisi, akola mu kkolero, omusuubuzi asookerwako ng'omutembeeyi bw'okola ennyo oteekwa okuganyulwa mu ntuuyo zo. Tujja kubaggyako omusolo ogusaanidde era tukakase nti bwe gukung'aanyizibwa ssente zikola ekituufu kye ziteekeddwa okukola.
  10. Okuteekawo eddwaaliro erisobola okuzaalisa obulungi ku buli ggombolola, omukyala azaala aleme kuluyita lutalo lwa kuzaala wabula ekirabo ky'okuzaala. Nga tugoberera endagaano y'e Maputo ne Abuja tulina okuteeka ssente mu bujjanjabi naddala ku bakyala n'abaana.
  11. Abasuubuzi bannansi tubasuubiza nti tujja kubayisa mu ngeri yeemu nga bayinvesita abagwira. Okubakendeereza ku musolo n'okubasonyiwa kisoboka.
  12. Okuteekawo ensawo ewola abayizi ba siniya ffiizi n'abo abaakamala okusoma nga baagala entandikwa.
  13. kutumbula enkola ey'okweterekera n'okutandikawo emirimu. Okuzzaawo ebibiina by'obwegassi mu balimi wamu n'okubanoonyeza akatale mu mawanga agatwetoolodde ne ku ddaala ly'ensi yonna.
  14. Ebiseera by'eggwanga eby'omu maaso tebyesigama ku bisuubizo wabula kw'ebyo bye mumaliridde okukola. Abayimbi, abawandiisi b'emizannyo n'ennyimba, bakazannyirizi n'abalala bonna abakugu mu bye bakoka tuli beetegefu okulaba nga mubifunamu n'okubongera obukugu.
  15. Akalulu k'owa NUP ye ndagaano gy'oteekako omukono ng'ekakasa nti munnansi tajja kutulugunyizibwa kubanga takkaanya n'abo abali mu buyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....