TOP

'Ku luno twagala Museveni ayeze lweyo obululu'

Added 9th November 2020

Singh Katongole (wakati) ng’akwasa Moses Kalangwa ssentebe wa NRM e Kayunga n’e Jinja ebisumuluzo by’emmotoka nnya ezaaweereddwaayo okunoonyeza Museveni akalulu.

Singh Katongole (wakati) ng’akwasa Moses Kalangwa ssentebe wa NRM e Kayunga n’e Jinja ebisumuluzo by’emmotoka nnya ezaaweereddwaayo okunoonyeza Museveni akalulu.

ABA NRM batongozza ttiimu egenda okunoonyeza Museveni akalulu ne beekokkola enkwe ezifumbekedde mu kibiina. Ttiimu eyatongozeddwa eggulo ku Kati Kati Restaurant ku Lugogo Bypass mu Kampala yatuumiddwa Team 1 YKM Sevolution ng'erimu bassentebe ba NRM mu disitulikiti, bakkansala, abasuubuzi ne bannabyabufuzi okuva mu bitundu 18 ebikola Uganda.

Ssentebe wa NRM e Kayunga ne Jinja, Moses Kalangwa yagambye nti, baagala ku mulundi guno, Pulezidenti Museveni awangule ayeze lweyo obululu ng'afuna ebitundu 100 ku 100. Ssentebe wa NRM mu Kampala, Singh Katongole eyabadde omugenyi omukulu yagambye nti, Kampala alimu ekizibu ekyamaanyi kubanga ebitebe by'ebibiina by'ebyobufuzi byonna mu ggwanga mwe bisangibwa nti kyokka baggyeeyo n'ag'omu buto okuwangula Kampala ku mulundi guno.

Katongole yennyamidde olw'enkwe ezifumbekedde mu kibiina omuli abantu okulimirira bannaabwe n'abamu abawangulwa mu kamyufu okugaana ebyava mu kulonda ne basalawo okwesimbawo ku bwa nnamunigina ekiyinza okubafiiriza ebifo. Yayongeddeko nti, amaanyi bagenda kusinga kugateeka mu bitundu abooludda oluvuganya gye bazzenga bawangula okuli Rukungiri era eno, baakwasizza omusuubuzi Ambrose Kibuuka omulimu gw'okukuyega abalonzi balonde Museveni ne NRM.

 ‘Team Kibuuka' yawaddeyo emmotoka bbiri ezigenda okutalaaga eggwanga nga bayigga akalulu ka Museveni era zino n'endala bbiri, Singh Katongole ze yakwasizza Kalangwa okutandika emirimu. Bannakibiina omwabadde n'abavubuka baweze okulwana okukuuka ejjembe okufunira Museveni obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...