TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba saluuni bajjukizza Pulezidenti ssente ze yabasuubiza

Aba saluuni bajjukizza Pulezidenti ssente ze yabasuubiza

Added 9th November 2020

ABAKOZI ba saluuni abeegattira mu kibiina kya Rise Investors, Save Easily Serve Importantly (RISESI) bajjukizza Pulezidenti Museveni ku ssente ze yabasuubiza mu biseera eby'omuggalo ne ssente ez'Emyooga gavumenti z'etaddewo okuyagamba abantu okwekulaakulanya.

Abamu ku bammemba abaabadde mu lukiiko nga bawuliriza bakama baabwe.

Abamu ku bammemba abaabadde mu lukiiko nga bawuliriza bakama baabwe.

Bya AGNES NANTAMBI

ABAKOZI ba saluuni abeegattira mu kibiina kya Rise Investors, Save Easily Serve Importantly (RISESI) bajjukizza Pulezidenti Museveni ku ssente ze yabasuubiza mu biseera eby'omuggalo ne ssente ez'Emyooga gavumenti z'etaddewo okuyagamba abantu okwekulaakulanya.

Mu lukungaana lwa bannamawulire olwayitiddwa ssentebe w'ekibiina kino, Emmanuel Bogere, baasabye Pulezidenti Museveni okussa mu nkola ekisuubizo kye. Abamu ku bammemba baalumirizza abakulembeze baabwe nti ensimbi ezaabasuubizibwa bakakasa nti zaabaweebwa dda kati bababuzaabuza bubuzaabuza.

"Tukooye okututuuzanga mu nkungaana ezitalina mulamwa, temuddamu okutuyita nga temulina ssente za kutuwa," Innocent Mugerwa nnannyini saluuni ya Innos Saloon e Namugongo bwe yagambye. Mugerwa yannyonnyodde nti abakulembeze baabwe balemeddwa okukwatagana n'abantu abatuufu abatuuka ewa pulezidenti basobole okufuna ensimbi zino.

Pulezidenti Museveni bwe yalangirira omuggalo n'abalina saluuni teyabataliza era bangi baalaajana nga baagala bakkirizibwe okuggulawo kubanga embeera yali ebayinze. Okusaba kwabwe, Pulezidenti yakuwuliriza n'abasuubiza okubawa ssente ez'okuteeka mu bizinensi zaabwe wadde nga yamala n'abakkiriza okukola.

Mugerwa yagambye nti singa bafuna abantu abatuufu abatuuka ku Pulezidenti Museveni bandisobodde okuzifuna naye kati essuubi ligenda libaggwaamu. Ye Abbey Jjagwe yagambye nti balekeddwa nnyo emabega kyokka ng'omulimu gwabwe guwaniridde abavubuka bangi abandibadde banoonya emirimu.

Isaac Mungi atwala ekitundu kya Makindye agambye nti omulimu guno gukalubidde ddala olw'ensonga nti ebizigo ebisinga bye baali bakozesa byayitako, ebyuma ebisala enviiri ebimu byatalagga kyokka tebalina nsimbi kugula birala. Mu ngeri y'emu asabye Pulezidenti abagambire ku balandiroodi abakyasibidde ebintu byabwe mu bizimbe nga babasaba ensimbi z'obupangisa.

Ate Florence Birungi atwala ekitundu kya Busega agambye nti obuzibu buvudde ku butaba bumu, obunnanfuusi n'obutayagaliza nga buli kiseera abakozi abasinga babeera mu kubega bannaabwe mu kifo ky'okwekulaakulanya. Charles Sebuufu akwanaganya emirimu gy'ebyobusuubuzi mu kibiina kya TEAM THOROUGH YKM 2021 ekinoonyeza Pulezidenti akalulu yagumizza bammemba bantu bano n'abasuubiza nti ensimbi ezaabasuubizibwa bagenda kuzifuna singa bakkiriza okwetaba mu bwegassi.

"Mubadde n'ekizibu ky'obwegassi naye kati twagala musooke mwegatte bulungi olwo tubasomese ku nsimbi mulyoke muzifune ssaako n'ez'Emyooga,"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...