TOP

Eyakubwa ttiyaggaasi alaajanidde abazirakisa

Added 9th November 2020

Nnaalongo Judith Heard omu ku bakyala abaali bamanyiddwa ennyo mu kulya kaasi n’okucakala mu Kampala atulise n’akaaba omukazi Agnes Nakavuma eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi ne kamusesebbula omukono bwamulombojjedde obulumi bw’alimu ng’ate talina buyambi bumala.

Judith Heard (ku ddyo) ne Nakavuma eyakubwa ttiyaggaasi.

Judith Heard (ku ddyo) ne Nakavuma eyakubwa ttiyaggaasi.

Bya Lawrence Mukasa

Nnaalongo Judith Heard omu ku bakyala abaali bamanyiddwa ennyo mu kulya kaasi n'okucakala mu Kampala atulise n'akaaba omukazi Agnes Nakavuma eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi ne kamusesebbula omukono bwamulombojjedde obulumi bw'alimu ng'ate talina buyambi bumala. 

Nakavuma yakubwa  ttiyaggaasi gye buvuddeko mu bitundu by'e Makindye poliisi bwe yali egumbulula abawagizi ba Bosco Esagala omu ku beesimbyewo nga mu kiseera kino talina mulimu gwasobola kwekolera n'obuyambi okulabirira abaana be abasatu.  Yamusanze Nsambya ng'amutwalidde obuyambi. 

Nakavuma yeetaaga 4,700,000/- okulongoosebwa omukono ssente z'atalina bwatyo Judith Heard yasabye abazirakisa bonna mu ggwanga okumudduukirira.  Nakavuma agamba nti yali atambula makubo ge ng'agenda okusuubula ennyaanya n'agwa mu bantu abaali badduka gye baamukubira ttiyaggaasi. Yagambye nti alina okulumwa olwa poliisi obutamuyamba.

Osobola okumufuna ku ssimu nnamba 0708018281.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...