TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukululana etomedde aba bboodabbooda ne basiba oluguudo

Lukululana etomedde aba bboodabbooda ne basiba oluguudo

Added 9th November 2020

Bya Abdul Muwonge                                                                                                                                                                                   ENTAMBULA  esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka aba bboodabbooda bwe baggadde oluguudo okumala ekiseera oluvannyuma lwa lukululana okutomera bannaabwe babiri omu n'afa nga balinda poliisi okumutwala mu ddwaaliro. Akabenje kano kagudde mu ttaawo lye Kyengera mu kitoogo kya Lubigi.

Aba booda abaatomeddwa nga bataawa.

  Kino kiggye aba bboodabbooda mu mbeera ne basitula omulambo ne baggusa mu luguudo wakati ekintu ekisannyalazza ebyentambula mu kitundu kino era nga kino kitutte essaawa eziwerera ddala nnya nga poliisi tennaba kutuuka.

Jjaamu yakutte okumala akaseera olwa poliisi okulwawo okutuuka.

Oluvannyuma bapondoose ne bajja omulambo mu luguudo nga mu kiseera kino ne poliisi weetuukidde ng'eno abantu bwe bagiwereekereza ebisongovu. Abaserikale basanze akaseera akazibu okuggyayo bboodabbooda ebadde ewagamidde wansi mu mipiira gya lukululana. 

Oluvannyuma poliisi yatuuse okukkakkanya embeera n'okutwala omulambo mu ddwaaliro. (Ebif. bya Abdul Muwonge).

 Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago. Aba bboodabbooda balangidde poliisi obutabafaako nga bafunye obuzibu kyokka bwe gutuuka mu biseera bya kafiyu baanguwa obubakwata. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...