TOP

Aba bbaala ne kiraabu bakyali ku muggalo

Added 10th November 2020

Ab’omu butale bw’omubuulo n’ebifo bya zzaala bakkiriziddwa okuddamu okukola ate bannabyabufuzi ne babongera omuwendo gw’abantu ab’okusisinkana mu nkung’aana zaabwe.

Abadigize nga babinuka mu ndongo y'abayimbi.

Abadigize nga babinuka mu ndongo y'abayimbi.

Ab'omu butale bw'omubuulo n'ebifo bya zzaala bakkiriziddwa okuddamu okukola ate bannabyabufuzi ne babongera omuwendo gw'abantu ab'okusisinkana mu nkung'aana zaabwe.

Pemba ng'agabira ebyana ssente. Yali mu Club Guvnor. Zino zikyali ku muggalo.

 

Oluvannyuma lw'ebbanga lya myezi munaana nga bali ku muggalo, gavumenti kyaddaaki ekkirizza abasuubuzi b'omu butale bw'omubuulo, ebifo bya zzaala, jjiimu, cinema okuddamu okukola.  Kino kisanyudde abamu ku basuubuzi ne bagamba nti babadde mu bulumi nga n'abamu bannaatera okufiira mu mayumba ate abalala amabanja gabali mu bulago. 

Ng'ayogera eri bannamawulire ku Mmande mu maka ge e Muyenga, minisita w'eby'obulamu, Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti bano bonna baakutandika okukola nga November 14, 2020 wakati mu kugoberera n'okuteeka mu nkola ebisaanyizo by'abasawo okukugira okusaasaana kwa corona nga beewa amabanga, okunaaba mu ngalo n'ebirala.

Yategeezezza nti aboobuyinza be kikwatako bajja kusooka kulambula bifo bino n'okulung'amya abakoleramu ku ngeri gye bagenda okukolamu emirimu n'okulaba abo abalina ebisaanyizo. Wabula minisita yagambye  nti bbaala ne kiraabu byo bigenda kusigala nga biggale kubanga ebifo bino bikyali bya bulabe naddala mu mbeera gye tulimu. 

BANNABYABUFUZI BABATADDEKO EBIRAGIRO EBIPYA                                                                                                                                Bw'atuuse ku bannabyabufuzi abatandise kampeyini zaabwe leero, Minisita agambye nti wadde tebakkirizibwa kukuba nkung'aana, bakkirizibwa okutuuza enkiiko z'abantu abatasukka mu 200 okuva ku 70 be basooka okubalagira kyokka bano balina okukuuma amabanga nga  batudde n'okwambala masiki, okunaaba mu ngalo n'ebirala.

Ono era avumiridde ekya bannabyabufuzi abatambula nga bayisizzamu emitwe mu mmotoka zaabwe nti kino kireetera abantu okukung'aana mu bungi ekikontana n'ebiragiro ku corona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...