TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutuwagire tukyuse obukulembeze - Maneja Kayemba

Mutuwagire tukyuse obukulembeze - Maneja Kayemba

Added 10th November 2020

Kayemba Solo (ku ddyo) n'omubaka Veronica Nannyondo nga batongoza kampeyini zaabwe.

Kayemba Solo (ku ddyo) n'omubaka Veronica Nannyondo nga batongoza kampeyini zaabwe.

Bannakibiina kya NUP abeegwanyiza ebifo by'obubaka bwa Palamenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi batongozza kampeyini zaabwe n'okuggulawo ofiisi z'ekibiina okwetooloola disitulikiti. 

Kayemba ng'ayogera eri abantu b'e Bukomansimbi.

Bano baakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Veronica Nannyondo, maneja  Geoffrey Kayemba Solo eyeegwanyiza ekifo ky'omubaka wa Bukomansimbi South ne  Dr. Christine Ndiwalana eyeegwanyiza ekifo ky'omubaka akiikirira Bukomansimbi North.

Chris Evans (ku kkono) ng'akooka ng'eno Kayemba ne Nannyondo basala ddansi.

Kampeyini zaabwe baazitongolezza  mu ggombolola y'e Kibinge e Bukomansimbi ng'era baawerekeddwako abayimbi okuli: Chris Evans, Kazibwe Kapo n'abalala abaakubidde abantu omuziki.

Baasabye Bannabukomansimbi ku mulundi guno babeegatteko bakwasize wamu okulaba nga bakyusa omukulembeze mu mirembe ate nabo babawagire bayingire palamenti. Baabakuutidde n'okukuuma ennyo akalulu nga bamaze okulonda kaleme kukwatibwamu be baayise bannakigwanyizi abeeyagaliza bokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...