TOP

Taata apanze abatemu okuwamba omwana we

Added 11th November 2020

BUKYA omwana, Abdul Kasibante 3, abula mu October bazadde be babadde bagomoka ne poliisi okumununula mu baamuwamba abaasaba ssente obukadde 10. Gye biggweeredde nga poliisi ekutte kitaawe ku bigambibwa nti yabadde wakati mu ddiiru y’okubuzaawo omwana afune ssente.

Nambassa ne mutabani we Kasibante. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe, okulaba vidiyo.

Nambassa ne mutabani we Kasibante. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe, okulaba vidiyo.

BUKYA omwana, Abdul Kasibante 3, abula mu October bazadde be babadde bagomoka ne poliisi okumununula mu baamuwamba abaasaba ssente obukadde 10. Gye biggweeredde nga poliisi ekutte kitaawe ku bigambibwa nti yabadde wakati mu ddiiru y'okubuzaawo omwana afune ssente.

Jamir Ssebuliba yakwatiddwa ne mukazi we (maama w'omwana) oluvannyuma lwa bambega okuzuula ng'abazadde bandiba mu lukwe. Yakutte n'abantu abalala bana abaasangiddwa n'omwana nga bamukwese e Luweero gye babadde basinziira okusaba ssente n'okutiisatiisa okusalako omwana obulago ssinga abazadde tebanguyaako ssente.

Kyokka maama w'omwana ono, Sharifah Nambassa yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi. Bba Ssebuliba akyali mu kaduukulu. Abalala abaakwatiddwa bonna baliraanwa bwe babeera mu Nanfuka Zooni e Nateete. Nambassa bwe yafumbirwa ewa Ssebuliba omusazi w'enviiri e Nateete yajja n'omwana Kasibante.

Kasibante yabuzibwawo nga October 29. Ensonga zaatwalibwa ku poliisi e Nateete. Ebitongole ekya Flying Squad, CMI, Crime Intelligence ne poliisi y'e Katwe ne bitandika omuyiggo ku mwana ono. Babadde bamunoonya ng'abaamuwamba bali naye e Luweero nga boogera n'abazadde nga babasaba ssente obukadde 10.

Poliisi yabalondodde ku ssimu nnamba 0754156240 kwe baalagira abazadde okusindika ssente. Abaserikale baasoose kukwata Mike Mwanje avuga bodaboda e Nateete gwe baayise okuva e Luweero awaabadde omwana n'ajja e Kampala nga bamulimbye bwe bamufunidde omulimu omusava. Bwe baamukutte kwe kubatwala awali omwana e Luweero.

Ono yalumirizza Ssebuliba nti ye yabawa ddiiru y'okuwamba omwana basabe nnyina ssente. Bwe yabuuziddwa gye baabadde basuubira maama w'omwana okuggya ssente n'agamba nti Ssebuliba yabagamba nti mukazi we aliko ssente ze yali afunye nga n'ekirala ne ffamire gye yamuzaala erina ssente.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Nambassa ne bba Ssebuliba baatwala omusango ku poliisi nayo eyaggulawo ffayiro SD 09/30/10/2020. Yagambye nti be baakanyweza ku nsonga eno baakuggulwako emisango bavunaanibwe amangu ddala.

Ebyakazuulwa biraga nga muka Mwanje ayitibwa Irene Nagawa ye yanona omwana awaka kubanga baali bamanyiganye ne nnyina. Yatwala omwana n'amukwasa bba. Kigambibwa nti Mwanje ne banne bali mu kabinja akeeyita ‘call call' abakubira abantu amasimu nga beefudde mikwano gyabwe ne babalimba okubanyaga nga bayita mu "kubasomera" bizinensi oba ddiiru ezifuna.

Kyokka Nambassa agamba nti baliraanwa baabwe mu kuwamba omwana alowooza nti baakikoze bokka era bba bamuwaayiriza. Omwana poliisi yamuddiza nnyina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...