TOP

Museveni alaze eby'okussaako essira

Added 11th November 2020

PULEZIDENTI Museveni alaze ebintu mukaaga ebigenda okussibwako essira okusitula embeera z’abantu b’e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Essira, Museveni yagambye nti ligenda kussibwa ku: Balimira awafunda, amasomero, amakolero, enguudo, ettaka n’ebyamazzi.

Museveni ng’atuuka ku Golf Course Grounds e Lira gye yasisinkanidde abakulembeze b’e Lango n’abeesimbyewo ku kkaadi ya NRM.

Museveni ng’atuuka ku Golf Course Grounds e Lira gye yasisinkanidde abakulembeze b’e Lango n’abeesimbyewo ku kkaadi ya NRM.

PULEZIDENTI Museveni alaze ebintu mukaaga ebigenda okussibwako essira okusitula embeera z'abantu b'e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola. Essira, Museveni yagambye nti ligenda kussibwa ku: Balimira awafunda, amasomero, amakolero, enguudo, ettaka n'ebyamazzi.

Bwe yabadde ayogera mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero ku Mmande ekiro, yagambye nti, amaka 457 gaamaze okuyingira eddiini y'okugoba obwavu ne gakyusa ennima ne bava ku y'okukolerera olubuto ne badda ku nnima ereeta ssente. Museveni yagambye nti, okuva lwe yaleeta UPDF mu Operation Wealth Creation (OWC) abalimi basobodde okukyusa ennima nga kati, amaka 457 ku 1188 agali mu muluka gw'e Kawumu awali ffaamu ye baayingira okulima okuleeta ssente.

Baakagaba endokwa z'emmwaanyi obukadde 40 okuva mu 2014 nga mu Nakaseke baakagaba obukadde 12, Nakasongola bagabye obukadde 2 ne Luweero endokwa obukadde 26. Abalimi abaganyuddwa mu nteekateeka eno Museveni be yeenyumirizaamu ye ;

  1. Ssebuufu Mitala ow'oku kyalo Kanyike mu ggombolola y'e Migadde eyafuna endokwa 1,800 n'aziteeka mu yiika ttaano nga kati aguze ettaka eddala awezezza yiika munaana.
  2. Hamidu Guweddeko omutuuze w'e Kijabijo yafuna endokwa n'aziteeka mu yiika nnya n'agattako n'ebitooke mw'asobodde okuzimba ennyumba. Charles Musanje Galikworeka ow'e Nambere yafuna endokwa 900 n'embizzi emu n'aziteeka mu yiika emu nga kati asobodde okugula ettaka eddala yiika 13 n'azimba ennyumba ssaako okuweerera abaana be.
  3. Abalala ye Kasoma omujaasi eyawummula, Samuel Kirinnya, Vincent Ssemakula ow'e Makulubita, Jane Nassiwa alima emicungwa, Herbert Miiro ow'e Nsanvu mu Namayumba alima emmwaanyi, ebitooke n'okulunda ente, Harriet Ssekweyama alunda enkoko, embuzi ente, embizzi okulima emmwaanyi n'ebitooke n'abalala.                                                                                                                                                                                                                                                                     Museveni yavumiridde eomuze okw'okusalasala mu ttaka n'agamba nti ekyo kizibu ky'amaanyi naddala ng'abazadde bafudde abaana ne bagabana kireese ekizibu abamu okuba nga tebalina we balimirira. Yasiimye minisita w'ebya tekinologiya Judith Nabakooba eyalwanyisa abagobaganya abantu ku ttaka e Mityana n'agamba nti, ne Aidah Nantaba yali akitandise edda e Kayunga wabula n'ateekamu eby'obufuzi ebirala.                                                                                                                                                                                                                                                                                                      AMAKOLERO Museveni yagambye nti, ekitundu kijjudde amakolero okuva e Matugga, Migadde, Kakerenge, Bbombo, Ssanga, Kapeeka ne munda eyo Abachina baatandikayo kaweefube okutandikayo amakolero abantu basobole okufuna emirimu. Yasabye ne Bannayuganda okukozesa omukisa gw'amakolero amanene okutandikawo obukolero obutonotono olw'amasannyalaze amangi kati agali mu ggwanga.                                                                                                              Yayongeddeko nti, e Kawumu bazimba ekkolero eryongera omutindo ku maliba n'ategeeza nti, abantu abakola mu makolero kati bali mu mitwalo 70 ate abakola mu kkampuni z'obuweereza bali 1,300,000. Yagambye nti, bw'ogatta abakozi ba Gavumenti bonna balina emirimu 470,000 n'agamba nti, abakola mu makolero basinga abakozi ba Gavumenti emirundi etaano.                                                                                                                                                                               AMASOMERO Yagambye nti, ebyenjigiriza mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola tebiyimiridde bubi n'ategeeza nti, Pulayimale gali amasomero 780 nga kuliko n'ag'obwannanyini nga ku buli muluka mu Nakasongola gulina essomero lya Gavumenti erya Pulayimale n'e Luweero bwe kiri ate e Nakaseke ku miruka 75, emiruka 22 tegirina masomero ga Gavumenti. Yagambye nti, balina okwongera amaanyi e Nakaseke okwongera ku masomero gatuuke ku buli Muluka.                                                                                                                                                                                                                                     Ku mutendera gwa Siniya yagambye nti, Nakaseke erina 17, Nakasongola 8 ate Luweero 18 omugatte 43 ate ag'obwannanyini gali 72. Yagambye nti, mu Luweero amagombolola gonna galina amasomero g'ebyemikono n'amatonotono mu Nakaseke n'e Nakasongola n'asaba bamukolere okunoonyereza okumanya oba amasomero ago gonna abaana bajjudde. Yasuubizza okuggyawo ssente za ffi izi abaana basomero bwereere emirimu gy'ebyemikono.                                                                                                                                                                                                                                        ENGUUDO Museveni yagambye nti, oluguudo lwa Matugga- Ssemuto- Kapeeka bagenda kuluddamu okulukola kubanga lukaddiye olw'ebimotoka ebigenda e Kapeeka n'ategeeza nti, abaalukola tebaamanya nti, Uganda ekulira ku misinde gya yiriyiri ne bakola oluguudo oluyitako obugaali bwokka. Nakwaya - Kakinga - Kapeeka - Kituuma - Butalangu bagenda kulukola koolaansi bagatteko n'olwa Luweero - Kikubannimba - Butalangu okutuuka e Ngoma bagenda ku lukuba koolaansi kubanga amafuta ganaatera okuvaayo.                                                                                                                                 Yayongeddeko nti, Abaluuli baamusabye oluguudo lw'e Kikyusa- Baamugolodde, Kamira okutuuka e Kalwama nalwo balina okulukola, ssaako oluva e Kabimbiri okutuuka e Wobulenzi - Kaasang'ombe - Lumansi okutuuka e Kapeeka nalwo bagenda kulukolako. Yagambye nti waliwo oluguudo oluva e Mawale - Kangavve - Kalongero - Masuliita okutuuka e Kakiri balina okulukola okumalawo entalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...